Ekibiina kya FDC ekiwayi kya Katonga road kitegese okulonda abakulembeze baakyo abagenda okuweereza mu bitubdu ebyenjawulo.
Enteekateeka y’okulondesa ku byalo ne ku district gyebabaddemu ekomekerezebwa nga 15 february,2024, ate Ttabamiruka w’ekibiina abeewo mu March mwebanaalondera abakulembeze abokuntikko.
Mu lukungaana lwabanna mawulire olutuuziddwa ku Katonga Road mu Kampala, ssantebe w’akakiiko ke kibiina kya FDC ake byokulonda Micheal Kabaziguluka agambye nti ,omwezi guno ogwa February, National Council ye Kibiina egenda kutuula bateketeeke okulonda kw’ekibiina.
Wabula wadde ng’ekiwayi kino ekya Katonga iteekateeka akalulu, naye ekye Najjanankumbi kyo kyalonda dda obukulembeze bw’ekibiina, ekye Katonga bwebawakanya.
Bagamba nti okulonda okwo kwetobekamu emivuyo mingi omwali n’okukuba abakulembeze kwossa okugula ba kifeesi nebawamba ekitebe kye kibiina e Najjanankumbi ebimu ku byavaako ekibiina okwekutulamu.
Ensonga endala gwe musimbi ogugambibwa nti gwayiibwa mu kibiina era nga gwayiibwamu government ekulemberwa NRM, era nti gwegwavujirira kakuyege wa FDC mu kalulu ka bonna aka 2021, ekyatabula abamu ku banna kibiina nga bagamba nti kuno kubanga kutunda kibiina kyabwe.
Wabula Micheal Kabaziguluka akikatiriza nti FDC eri emu nga abalala abeeyita abakulembeze ba FDC batunulidde malya ga nsimbi.
Bisakiddwa: Sharif Lukenge