Ekibiina kya FDC ekiwaayi kye Najjanankumbi kisazizaamu enkolagana yaakyo n’ekisinde kya People’s Government ekyatandikibwawo Rtd.Col. Dr Kiiza Besigye eyaliko president wakyo.
Dr. Kiiza Besigye ng’omu kubatandisi b’ekibiina kya FDC yatandikako ekisinde kya People’s Government ng’omu kukawefube w’okwanguuya enteekateeka y’okukyusa government eriko eya NRM, era omu ku baamuli ku lusegere ye Eng Patrick Amuiriat Oboi mu kiseera kino bwebatalima kambugu.
Ng’asinziira mukulungaana lw’abanamawulire e Najjanakumbi, president wa FDC Eng. Patrick Oboi Amuriat, agambye nti tebasobola kutambulira wamu n’abantu ababalinako endowooza enkyamu.
Eng Amuriat era alabudde bonna abasinziira ku Katonga road okweyita aba FDC nti bamala budde, era abalagidde okukikomya nti kuba bagingirira n’ebiwandiiko by’ekibiina.
Bwabuziddwa ku ky’okuteseganya n’ekiwaayi kye Katongo nga bweyasuubiza bweyali yakawebwa ekisanja eky’okubiri, Eng Amuriat agambye nti okuteesa kugenda kubeerawo eri abetegefu bokka era nakakasa nti n’abagala olutalo nabo bajakubaddiza lutalo.
Eng. Patrick Oboi Amuriat era ayogedde ku nteekateeka gy’agenda okutandikirako mu kisanja kye kino ekipya byalowooza nti byebigenda okunywereza ekibiina mu bantu, mulimu emisomo eri abakulembeze wamu n’okweyambisa technologiya omuli emikutu gimugatta bantu n’ebirala.
Bisakiddwa: Kiyengo David ne Balikuddembe Joseph