Ekibiina kya Forum For Democratic Change FDC kisazeewo nti tekigenda kukolagana nakibiina kirala kyonna ku ludda oluvuganya government mu kalulu akagenda okubaawo omwezi ogujja ogwa February mu bitundu bye Serere.
Ebibiina bino ku ludda oluvuganga government okuli ANT,NUP,JEEMA ne FDC byali byateeka omukono ku ndagaano,bisimbengawo omuntu omu mu kalulu kokujjuza ebifo byóbubaka bwa Parliament, naye enteekateeka eno yagyamu omukoosi oluvanyuma abamu ku ba memba b’ebibiina bino okubeera nga basala eddiiro.
Mu lukungaana lwa bannamawulire olutudde ku kitebe kyékibiina kya FDC e Najjanankumbi, president wakyo Eng Patrick Amuriat Oboi agambye nti sibetegefu kwesibako mu muntu yenna mu kalulu kano.
Amuriat asinzidde wano n’alangirira Eratu Emmanuel ekibiina gwekikwasiza bendera mu kujuza ekifo kyómubaka wa Serere, oluvanyumwa lwómubaka eyali mu kifo kino Patrick Okabe okufa.
Eratu Emmanuel akwasiwa bendera yékibiina kino agambye nti azze agoberera ebibadde mu bululu obuzze buddibwamu okulonda, era nti mwetegefu okugumira embeera yonna enamutuusibwako.
Bisakiddwa: Sharif Lukenge