Dick Denis Owanyi akwasidwa bendera ya FDC mu kalulu k’okuddamu okulonda omubaka wa Omoro County.
Ekifo kino kyekyalimu eyali sipiika wa parliament Jacob Oulanyah, eyava mu bulamu bwensi.
Owanyi agambye nti ekimuleese ku kifo kino kwekulwanyisa obwavu obuli mu kitundu kyabwe.
Owanyi asabye ebitongole ebikuuma ddembe nti ku mulundi guno bireme kweyingiza mu kulonda kwe Omoro County, nti baleke abantu balonde omuntu gwebagala mu mirembe.
FDC eyanjudde Dick Denis Owanyi mu lukungaana lwa bannamawulire olutudde ku kitebe kya FDC e Najjanankumbi.
President wa FDC Eng Patrick Amuriat agambye nti obululu obuyise ebitongole byókwerinda bizze bibuzaawo abantu mu biseera by’akalulu okuteekawo okutya mu bantu, naye n’akikaatiriza nti kye kiseera ebitongole ebyo okukomya okweyingiza mu kulonda.
Amuriat Mungeri yemu ayanjudde olukiiko olugenda okukulemberamu okunoonya akalulu ke kibiina mu Omoro, era nga lwerulina nókukakuuma.
Mu kiseera kino enteekateeka z’okulonda zigenda mu maaso, okwekeneenya enkalala z’abalonzi kwekuliko kukoma nga 5th may, mu bifo 84 ebironderwamu mu constituency ye Omoro.
Okuwandiisa abagala okwesimbawo ku kifo ekyo kwa nga 12 ne 13 may.
Ebibiina ebirala ebyakalangirira abanabikwatira bendera kuliko NRM yaleese Andrew Ojok Oulanyah, so nga NUP yaleese Koliit Simon Akecha
Okunoonya akalulu kutandika nga16 – 24 may, 2022.
Okulonda kwakubaawo ng’ennaku zomwezi 26 may 2022.