Akakiiko ke byokulonda mu kibiina kya FDC mu butongole kalangiridde nti kamalirizza okulondesa ebifo byonna mu kibiina kya FDC eby’obukulembeze bw’ebitundu.
Mu kiseera kino kabakanye nagwakuyingiza amannya g’abakulembeze mu bitabo by’ekibiina ebitongole.
Akakiiko kano kaali kaalangirira dda nga bwekamaze okulondesa eggwanga lyonna,wabula district ye Kasese nesaba nti baali bakyaali mu kiyongobero ky’abaana b’essomero abaalumbibwa abayeekera,era nabo baabawadde omukisa wiiki eno nebenyigira mu kalulu era nebalonda abakulembeze abaggya.
Abakulu mu kakiiko ke byokulonda mu FDC bagamba nti omulimu gwonna gwakomekerezedwa nga 31 August 2023.
Ssabawandiisi w’akakiiko ke byokulonda mu FDC Ojobile Augstine agambye nti okulonda kw’ekibiina okunaddako kwakubaawo mu 2029.
Wabula okulonda okwasembyewo mu district eye Kasese kwayongedde okusajula entalo mu kibiina kino, nga abamu ku bakulembeze ababadde baagaana abantu okwenyigira mu kalulu kano ate nabo beesimbyewo nebagonnomolwako ebifo.
Mungeri yeemu, wadde ng’okulonda mu kibiina akakiiko k’ebyokulonda mu FDC kaalangiridde nti kakumalirizza, naye abantu bangi tebetabye mu kalulu kano, olwa vulugu ali mu kibiina kyabwe, ng’abamu balumiriza ssaabawandiisi Nandala MAfaabi ne president Patrick Amuriat okubeera mu lukwe lw’okutunda FDC mu kibiina kya NRM ekikulembera government.#