Ssaabawandiisi wa FDC Nathan Nandala Mafaabi awandiikidde sipiika wa parliament, ng’amutegeeza nti omubaka wa Kiira municipality takyali Nnampala wa FDC mu parliament.
Omubaka wa Mawokota South Yusuf Nsibambi alondeddwa okudda mu kifo ekyo.
Embiranye mu kibiina kya FDC yeyongedde okuva Ssemujju ne banne lwebaavaayo ku nkomerero ya July 2023, nebalumiriza ssabawandiisi Nathan Nandala Mafaabi ne president w’ekibiina Patrick Amuriat Obbo okubeera mu lukwe lw’okutunda ekibiina eri NRM.
Babalumiriza nti n’ensimbi ezaavujjirira akalulu ka 2021 Amuriat mweyavuganyiza ku kifo kya president, nti zaamuwebwa NRM okudobonkanya obululu bw’oludda oluvuganya government.#