Poliisi ku kisaawe ky’ennyonyi Entebbe ekutte omuvubuka Mubiru Paul eyatundira enseenene ku nnyonyi ya Ugada airlines namba UR446 eyabadde Eva e Uganda ng’eyolekera Dubai ssabbiiti ewedde.
Paul Mubiru akwatiddwa ne munne Kiggundu Habib agambibwa nti yeyakwata akatambi n’akasaasaanya ku mikutu emigatta bantu.
Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga agambye nti ababiri bano tebaakoma kutyoboola nnyonyi ya ggwanga, wabula baateeka n’abasaabaze abalala ku bunkenke olw’okutunda enseenene zabwe nga bwebaleekanira waggulu.
Agambye nti wadde nga baali bakebereddwa covid 19 nga balinnya ennyonyi, nti naye era kyali kibakakatako okwambala obukookolo kyebataakola olw’okusanyukirira kwebaafuna ng’abantu babagulako enseenene zebaali batwala e Dubai.
Enanga agambye nti wadde Mubiru Paul aliko obubaka bweyafulumya nga yetonda,bakusooka okumunoonyerezaako basalewo ekiddako.
Mu ngeri y’emu Ab’Obuyinza mu kibuga Kampala nga bayambibwako poliisi n’amagye bakutte abantu babiri ababadde bakukusa bannayuganda okubatwala e Congo okuyikuula eby’obugagga nga tebagoberedde mateeka.
Abakwate kuliko Rogers Vuma omukozi mu kampuni ensimi ya Zzaabu eya China Uganda Congo, ne Simon Ochogi omu ku balondoola enzirukanya y’emirimu mu Hotel ya Star Inn guest House Kikoni.
Kitegeerekese nti abakwate bano babadde bawandiisa abantu abagenda okukolera e Congo awatali lukusa kuva mu gavumenti, era nti babadde babatwala e Congo nga babayisa e Kasese ne Kanungu.
Ayogerera poliisi mu ggwanga Fred Enanga asinzidde Naggulu ku kitebe kya poliisi ekikulu, nategeeza nti nga ogyeeko ababiri abakwaatiddwa , waliwo abalala musanvu abatanategerekeka ababadde nabo balindidde okutwalibwa mu Congo.