Eyaliko Ssaabawolereza wa government ya Uganda Prof.Edward Kiddu Makubuya avudde mu bulamu bw’ensi eno ku myaka 75 egy’obukulu.
Kiddu yazaalibwa nga 30 July 1949.
Yali Ssaabawolereza wa government okuva mu 2005 okutuuka mu 2011.
Abadde munnamateeka, omusomesa waago, omuwandiisi w’ebitabo ebikwata ku mateeka, era abadde munnabyabufuzi omukuukuuyivu.
Yali mubaka wa parliament owa Katikamu South mu district ye Luweero, yaliko minister w’eby’enjigiriza n’emizannyo okuva mu April 1999 okutuuka mu January 2005.
Yaliko minister w’emirimu egyenjawulo mu wofiisi ya Ssaabaminister okuva mu 2011, wabula mu April wa 2012 naalekulira, ku byekuusa ku nguzi.