Eyaliko president wa Kenya Dr. Emilio Stanley Mwai Kibaki avudde mu bulamu bwensi ku myaka 90 egy’obukulu.
Yazaalibwa nga 15 November 1931, ku kyalo Kimuri Kerugoya mu Kenya.
Yali president wa Kenya ow’okusatu, yadda mu bigere bya Daniel Arap Moi.
Kibaki yafuga Kenya okuva mu december wa 2002 okutuuka nga 9 April 2013.
Weyafugira mu kiseera ky’okusoomozebwa mu Kenya, omwali akatuubagiro k’ebyenfuna,’okulinnya kw’ebbeeyi y’ebintu, amagendo, n’obulyi bwenguzi.
Ajjukirwa nnyo mu kulondebwa kwe ku kisanja eky’okubiri,Kenya yamaamirwa ekitta bantu ekyabalukawo wakati w’amawanga, oluvannyuma lw’okusuula akalulu akaaliwo ku nkomerero ya 2007.
Obuwanguzi bwa Mwai Kibaki mu 2002, yeyali enkomerero y’obukulembeze bw’ekibiina ky’ebyobuguzi ekya KANU ekyali kifugidde Kenya emyaka 40.
Mwai Kibaki era yaliko omumyuka wa president wa Kenya wakati wa 1978 – 1988.
Yaliko minister w’ebyensimbi wakati wa 1969-1982.
Yaliko omubaka wa parliament era yakiikirira essaza lye Othaya okumala emyaka 39, okuva mu 1974 -2013.
Yaliko omuyizi mu Makerere University mu Uganda, gyeyakugukira mu masomo ga political science ne economics, n’atikkirwa bachelor of arts degree in economics mu 1955. Yali omu ku bayizi abaafuna ‘first class degree’.
Yaliko omumyuka w’akulira abayizi mu Makerere University mu 1954-1955.
Oluvannyuma yakomawo nasomesa essomo lya economics mu Makerere University wakati wa 1958-1960.
Ku matikkira ga Makerere University ag’omulundi ogwa 62, agaaliwo nga 24 January,2012 Mwaki Kibaki yawebwa ekitiibwa ekyenjawulo ekya honourary doctorate of laws of Makerere University.
Ku matikkira ago yategeeza nti ekiseera kyeyamala mu Makerere University ng’omuyizi era ng’omusomesa, yeyali emmanduso y’okwekkiririzamu okubeera omukulembeze era munnabyabufuzi.
” Being here has triggered a great sense of nostalgia for the many years, I studied and teached at this great institution. Many of my leadership skills were developed and nurtured here’ – Mwai Kibaki
Mu biseera by’oluwummula Mwai Kibaki yakolanga conductor wa bus mu Kenya, mu kampuni eyayitibwanga Othaya bus service company, okufunayo sente za ‘pocket money’ zeyakozesanga ku ssomero.
President wa Kenya Uhuru Kenyatta amwogeddeko ng’omusajja abaddeko ebyafaayo ebiwera ng’omuntu ne mu byafaayo bya Kenya.
Alagidde bendera za Kenya okwewuubira wakati ku mirongooti okutuusa lwanaaziikibwa.