Kooti enkulu ewozesa emisango gy’ekitta bantu esalidde eyali omuserikale wa UPDF Daniel Kisekka Kiwanuka ekibonerezo kya kusibwa mu kkomera emyaka 35 oluvannyuma lw’okukkiriza omusango gw’okutta eyali omumyuka wa ssaabawaabi wa government Joan Kagezi mu 2015.
Kisekka okusingisibwa omusango kiddiridde okuteeseganya ne ofiisi ya ssabawaabi wa government mu nkola ya Plea Bargain n’emugyako omusango ogw’obutujju nasigaza ogw’obutemu gwokka gwakkirizza.
Abalamuzi 4 nga bakulembeddwamu omulamuzi Michael Elubu bebawadde Kisekka ekibonerezo oluvannyuma lw’okukakasa nti byonna ebiri mu nteeseganya gyeyakola ne ssabawaabi wa government bituufu.
Abawaabi ba government abaakulembeddwa Thomas Jatiko baalumirizza nti Kisekka yabba emmundu 5 eza AK-47, oluvannyuma ne yegatta ku kibinja ky’abamenyi b’amateeka ekyakola olukwe olw’okutta Joan Kagezi nga basuubiziddwa doola za America emitwalo USD 200,000.
Obujulizi mu kkooti bulaga nti nga 30 March, 2015, Kisekka n’abalala baalinnya akagere omugenzi Joan Kagezi nebamusasira amasasi e Ntinda, oluvannyuma naafira mu ddwaliro e Mulago.
Kisekka yeekweka okumala emyaka 8 okutuusa lwe yazuulibwa e Luweero gyeyali yekukumye oluvannyuma lw’emyaka 8 mu 2023.
Jacqueline Okwi, omwogezi wa ofiisi ya Ssaabawaabi wa government asiimye ekisaliddwawo kkooti.