Hamza Kintu Mayambala ow’emyaka 43 oluusi ayitibwa Mayambala Mugabi eyali asabiriza ku nguudo zomu Kampala asindikiddwa ku alimanda e Luzira, oluvannyuma lw’okwegaana emisango gy’okusangibwa n’emmundu.
Mayambala yakwatibwa kumpi n’ekizimbe kya Kalungi Plaza mu Kampala ng’asindikibwa mu kagaali k’abalema era w’abadde atera okutuula ng’asabiriza abayise.
Kooti emuvunaanye okusangibwa n’emmundu ngate talina bijogerako ekintu ekikontana n’akawaayiro 3(1) ne 2(a) ak’etteeka erirunngamya eby’okulwanyisa mu ggwanga.
Oludda oluwaabi era lulumiriza Kintu Mayambala okusangibwa n’ebintu bya government mu ngeri emenya amateeka, omuli uniform ya UPDF, engatto z’abasirikale ba police, n’ekooti y’amagye nga kirowoozebwa okuba nti yabba bibbe.
Bino byonna Kintu Mayambala abyegaanye mu maaso g’omulamuzi wa kooti ya Buganda Road Siena Owomugisha.
Omulamuzi amuzizaayo ku alimada okutuusa nga 8 May, 2023.
Omuwaabi wa government Lydia Nakato ategezezza kooti nti okunonyereza ku musango guno kuwedde, era betegefu okuleeta abajulizi abamulumiriza.