Munna kibiina kya UPC Eunice Otuko Apiyo, alangiriddwa ku buwanguzi bw’ekifo ky’omubaka wa parliament omuggya owa Oyam North county mu district ye Oyam.
Otuko addidde omugenzi Rtd Col Charles Engora Macodwogo Okello eyafa gyebuvuddeko olw’okukubwa amasasi.
Akulira eby’okulonda mu district ye Oyam, Onobe Richard Olwa, yalangiridde munna UPC ono ku kifo kino, oluvanyuma lwokukunganya obululu obukira ku bwabanne.
Eunice Apiyo Otuko owa UPC afunye obululu 15,718 by’ebitundu 49%, addiriddwa munna NRM Engola Samuel Junior n’obululu 15,161 bye bitundu 47%, ssonga Munna FDC, Okello Newton Freddy, akutte kyakusatu n’obululu 714, olwo Munna NuP, Daniel Okello naakwata eky’okuna 403.
Onobe Richard agambye nti obululu 31,996 bwebwakubiddwa, 37 bwayonooneddwa, 755 bwafudde ng’omugatte abalonzi 32,751 bebeetabye mu kulonda kuno, kwabo abasoba mu mitwalo 9 ababadde balina okulonda.
Onobe Richard Olwa agambye nti enkuba yabataatagantizza nnyo kyokka musanyufu nti okulonda kuwedde mu mirembe.
Munna UPC, Eunice Otuko Apiyo, yebazizza abamulonzi era n’awera okugatta abantu b’ekitundu bonna.
Cbs mukwogerako ne Munna NRM, Samuel Okello Engola Junior, mutabani w’omugenzi Charles Engora Macodwogo Okello, agambye nti wakuddamu okwetegereza ebivudde mu kulonda asalewo ekyokuzaako.
Bisakiddwa: Ddungu Davis