Sipiika wa parliament Anita Among alagidde akakiiko ka parliament akalondoola eby’okwerinda n’ensonga zomunda mu ggwanga kaddemu ketegereze ebbago ly’etteeka erigendereddwamu okulwanyisa enkozesa y’ebiragalalagala mu ggwanga erya Narcotic Drugs and Psychotropic substance Control bill 2023.
Kizuuliddwa nti akakiiko kano bwekabadde ketegereza ebbago lino kalikyusiza neryawukana kweryo eryayanjulwa mu parliament.
Ebbago lino lyayanjulwa government ng’eyita mu ministry y’ensonga zomunda mu ggwanga ,era parliament nerisindika mu kakiiko kaayo akalondoola eby’okwerinda n’ensonga zomunda mu ggwanga okulyetegereza.
Pariament ebadde erina okufuna alipoota eyavudde mukwekeneenya ebbago lino,wabula sipiika agambye nti yalyetegerezza naakizuula nti akakiiko kalikyusizza.
Wano kwekukalagira kaddemu kalyegereze nga kakwataganye ne Ssaabawolereza wa government nr minister w’ensonga zomunda mu ggwanga bagonjoole ensonga z’ebbago lino.
Ababaka ba parliament abakugu mu by’ekisawo okuli Dr Kamara Nicholas owa munisipaali ye Kabale ne Dr Samuel Acuti omubaka wa Kole North basabye sipiika alagire akakiiko k’ebyobulamu nako kegatte mu kwekeneenya ebbago lino, engeri gyeririmu ensonga ezikwata ku ddagala lyabantu ,era okusaba kwabwe sipiika akukkiriza.
Ebbago lino lizze lyogeza abantu obwama okuva lweryayanjulwa kubanga likwaata ku biragalagala okuli enjaga, amayirungi nebirala abamu byebagamba nti ddagala, songa abalala bagamba nti byabulabe eri abantu.
Etteka lino lyali lyayisibwa parliament ey’omwenda, wabula kkooti etaputa ssemateeka nerisazaamu oluvanyuma lw’okukizuula nti bweryali liyisibwa, parliament teyalweza muwendo gw’ababaka ogw’essalira.#