Parliament eyisizza ebbago ly’etteeka erirungamya ekittavu kyabakozi erya NSSF 2021
Mu bbago eriyisiddwa, abakozi abaterese mu kittavu kino okumala emyaka 10 nga bawezeza emyaka 45 bakufuna ku nsimbi zabwe ebitundu 20%.
Ministry y’ekikula kyabantu yegenda okuvunanyizibwa ku kittavu kino wabula ebikwatagana ku by’ensimbi n’okusiga ensimbi ministry yeby’ensimbi yebivunaanyizibwako.
Abakozesa abagaana okuweereza ensimbi z’abakozi mu NSSF bakukubibwa engasi yabitundu 20% ku nsimbi ezo ezinaaba zikunganyiziddwa okuva mu bakozi wabula nebagaana okuzitwala mu kittavu kya NSSF.
Abakozi abaliko obulemu abawezeza emyaka 40 nga baterese mu kittavu kino okumala emyaka 10 bbo bakkiriziddwa okufuna ku nsimbi zabwe ebitundu 50%.
Minister wekikula kyabantu awereddwa obuvunanyizibwa okulabirira ekittavu kino.
Omukago ogutaba ebibiina byabakozi mu ggwanga ogwa National Organization of Trade Union NOTU gusabye NSSF, okutandiikirawo okunoonya ensimbi ezigenda okuweebwa abakozi abatereka mu kittavu kino abagwa mu biti by’abantu abagenda okutandika okunonayo ku nsimbi zabwe kireme kubakandaaliriza.
Ssentebe w’omukago gwa NOTU Usher Wilson Owere agambye nti balina essuubi nti singa omukulembeze weggwanga assa omukono ku tteeka lino, abakozi bangi bagenda kuganyulwa mu nsimbi zabwe, nti kubanga bangi ku bbo baali baayimirizibwa ku mirimu okuva omuggalo gwa covid 19 bwegwatandika mu mwaka gwa 2020.
Parliament egobye ennongosereza yomubaka munnaFDC owa Budadiri west abadde ayagala nti ensimbi mu kittavu kino ezibuliddwaako bannanyini zo abazinona nti zitwalibwe mu kittavu ky’eggwanga oluvanyuma lw’omwaka gumu nga ziterekeddwa.
Minister w’ekikula kyabantu awereddwa ebbanga lya nnaku 60 ng’omukulembeze weggwanga amaze okuteeka omukono ku bbago lino , okufulumya ennambika enagobererwa abakozi okutandika okufunamu ensimbi zabwe ebitundu 20%.
Oluvanyuma lwa palament okuyisa etteeka, omukulembeze weggwanga ssemateeka amuwa ennaku 30 gwemwezi gumu okussa omukono ku tteeka eriba limuweereddwa, era zennaku zezimu mwalina okuddizaayo ebbago mu palament singa agaana okulisaako omukono.