Wabaluseewo obutakkaanya wakati wa ssabaminister Robina Nabbanja Musafiiri nábabaka ba Parliament mu kitundu kye West Nile, entabwe eva ku government okulangirira nti mu bbbanga lya myezi 3 gyokka okuva kati egenda kusengula abantu bonna abali ku ttaka lya Apaa erirudde nga likaayanirwa.
Ettaka lino eriweza Square Kiometers 2 lirudde nga likaayanirwa wakati wa Bacholi nába Madi.
Olutalo luno lwaviirako abantu abawerako okudduka mu maka gabwe, kyokka ng’abamu ku bano balumiriza government nti yeyakwata ettaka lino neriwa musigansimbi okuva mu South Africa.
Ssaabaminister w’eggwanga Robina Nabbanja Musafiiri yayanjulidde abakulembeze b’e kitundu kino ebyasaliddwawo olukiiko lwa ba Minister [Cabinet] ku bikwata ku ttaka lino, era abantu abaliriko baalagiddwa okulyamuka mu bbanga lya Myezi 3 gyokka okuva kati.
Bino byatabudde abakulembeze b’ekitundu, era n’olukiiko ssabaminiater lweyabadde atuuzizza mu district ye Adjumani nerwabuka mu mbeera etali ya bulijjo.
Mu birala olukiiko lwa cabinet era lwasazeewo abantu bonna abalina ebibanja ne ttaka mu kitundu kino baliyirirwe obukadde 10m, eminwe gy’amabaati 20, saako ensawo za sseminti 20 buli muntu.
Cabinet era yalagidde abakulembeze ba District omuli ettaka lino okuggala akatale aka Apaa Central Market mu bbanga lya mwezi gumu okuva kati, ekitabudde abamu kubakulembeze mu kitundu kino.
Gilbert Oulanya Omubaka wa Kirak South mu Parliament agamba tebagenda kukkiriza bantu baabwe kusengulwa mu mbeera etyo, okutuusa nga government ekkiriza musiga nsimbi gweyagala okukozesa ettaka lino okutuukirira abantu butereevu era abaliyirire.
Antony Akol Omubaka wa Kirak North mu parliament agambye nti ensimbi obukadde 10 ntono nnyo, ng’abantu bangi balina ettaka ddene sso nábalala balinako ebintu ebivaamu ensimbi ezisukka ku ssente zino.
Wabula ssabaminister we ggwanga Robina Nabbanja Musafiiri agambye nti government yasoose kwekennenya byonna ebikwata ku ttaka lino, era tegenda kukyusa mwebyo ebyasalidwawo cabinet.
Ettaka lino eririko embiranye emaze emyaka egisoba mu 10 wakati w’abacholi n’aba Madi, lisangibwa mu district 2 eye Amuru ne Adjumani era nga libaddeko okuyiwa omusaayi n’okwokya amayumba.
Abakulembeze abawerako bazze basindikibwa mu kitundu ekyo okusala amagezi ku ngeri y’okugonjoolamu obutakkaanya, era ng’emirundi gyonna tewabadde kalungi kavaayo.
Eyali ssaabaminister Dr.Ruhakana Ruhunda, eyali sipiika wa parliament omugenzi Jacob Oulanyah, eyali minister w’ensonga z’omunda mu ggwanga Nyakayirima n’abalala enteseganya ku ttaka lino baazikolako.
Government egamba nti ettaka lino lyayo nga lisangibwa mu ttaka ly’ebibira ettalize, wabula nga lyajja lisengebwako abantu ba bulijjo, nebazimbako ennyumba zabwe wabula kati ebalagidde balyamuke mu myezi 3.
Bisakiddwa: Ssebuliba William
.