
Club ya Manchester United egucangira mu liigi ya babinywera eya premiership e Bungereza, erangiridde Erik Ten Hag nga omutendesi omuggya owa club eno okutandika ne season ejja eya 2022/2023.
Erik Ten Hag mudaaki wa myaka 52.
Atadde omukono kundagaano ya myaka 3, wabula muteereddwa akawayiro ak’okugyongezayo omwaka omulala mulamba.
Erik Ten Hag agenda kudda mu bigere bya Ralf Rangnick munnansi wa Germany, agenda okuwummula okutendeka Manchester United kunkomerero ya season eno.
Ralf Rangnick abadde mutendesi wa kiseera ku mulimu guno, nga yadda mu bigere bya Ole Gunnar Solskjaer eyagobwa ku mulimu guno olwómutindo ogwékiboggwe.
Erik Ten Hag mu kiseera kino mutendesi wa club ya Ajax eya Budaaki okutuuka kunkomerero ya season eno.
Oluvannyuma lwókulangirirwa ku mulimu gwókutendeka ManU, Erik Ten Hag agambye nti kyamuwendo gyali okulondebwa ng’omutendesi wa ManU,era mwetegefu okuzimba ttiimu eno okukomyawo ettuttumu eryasooka.
Bino bigidde mu kiseera nga Manchester United mu liigi erwana okukiika mu mpaka za Bulaaya omwaka ogujja wadde emikisa mitono ddala olwómutindo ogwékiboggwe.
Omupiira ogusembyeyo Liverpool yagikubye goolo 4-0.
Okuva Sir Alex Fergurson lwe yawummula okutendeka Manchester United mu 2013, club eno ekansiza abatendesi okubadde David Moyes, Louis Van Gaal, Jose Mourinho ne Ole Gunnar Solskjaer wabula nga bonna balemererwa okusitula omutindo gwa club eno.