Abavubi ku mwalo gwe Namaziina mu gombolola y’e Ngogwe mu district ye Buikwe bali ku bunkenke olw’Envubu eyazinze omwalo ogwo, ng’etandise n’okutta bannabwe.
Bagamba nti envubu eno tebamanyi gyeyava wabula nga kati ewezezza ebbanga lya mwezi mulamba ng’ebaziinze.
Waliwo abavubi 3 ababadde bakedde okuvuba ng’obudde busaasaana, ekubye eryato kwebabadde nebagwa mu nnyanja omu afiiriddemu, ababiri bataasiddwa.
Omu ku bavubi Jjuma Kasozi agambye nti bawulidde enduulu, nebalinnya obwato bagende babataase banabwe wabula basobodde kutaasaako 2, olw’envubu nabo okubagoba nebatuusa ku lukalu.#