Nga wasigaddeyo ennaku mbale okutuuka ku mwoleso gwa CBS PEWOSA Nsindikanjake, abamu ku bavujjirizi abakulu ab’omwoleso guno basisinkanye okukuwayaamu ku nteekateeka z’omuwoleso bwegunabeera n’ebisuubirwayo.

Ensisinkano ebadde ku kizimbe Masengere ku Bulange e Mengo.
Omwoleso gwakubaawo nga 27 March,2024 okutuuka nga 02 March,2024.




Abamu ku betabye mu nsisinkano eno mulimu National drug Authority, CFAO Motors, Car and General Uganda Ltd, NSSF,Simba Automotives,Uganda Printing and Publishing Company,Movit, CHINT Uganda,,Gombe Medical Services,Sums snacks, Justices Centre Uganda n’abalala.
Kampuni zino n’ebitongole bisuubizza okutuusa ku bannauganda obuweereza obwenjawulo, omuli emmotoka ezikozesa amasannyalaze, aba pikipiki za Haujue bakukanika pikipiki za bodaboda kubwereere, abatawaanyizibwa ensonga z’ettaka n’obutabanguko mu maka Justice Centre Uganda bakubayamba ku bwereere n’ebirala bingi.