Ekereziya Katolika mu Uganda etandise okwetegekera okulamaga kwe Namugongo okubaawo nga 3 June, buli mwaka.
Essaza lye Fort portal lyerigemda okutegeka omwaka guno ngalyetaaga akawumbi kalaamba aka shillings.
Bino byanjuddwa mu nsisinkano ne banamawulire ku kitebe ekikulu ekya abepiskopi mu Uganda e Nsambya, ekulembeddwamu omumyuka wa Ssentebe wekibiina ekigatta abepisikoopi mu Uganda- ki Uganda Episcopal Conference, Omusumba Rt Rev Robert Muhiirwa era ye musumba we Ssaza lya Fort Portal.
Agambye nti wadde bali mukutegeka okulamaga e Namugongo omwaka guno, balyalina okusoomoozebwa ekirwadde ki Covid 19, era bakusooka kulungamizibwa governement ku ntegeka y’emikolo.
Agambye nti amawulire gokubategeeza nti Fortportql yetegeka omwaka guno, baagafuna nga 14/02/2022.
Bakutambulira ku mulamwa ogugamba nti Omubatize asindikiddwa okujulira Kristu, nookwagala n’essuubi okuva mu Matayo 28:19.
Omusumba Muhiirwa agambye nti Ssentebe wolukiiko okuteesiteesi ye Rv Fr Charles Oyonga ayambibwako Dr. Patrick Birungi.
Abakulira enteekateka eno n’okukwanaganya omukolo guno e Kampala kuliko Hon Tom Butime and Hon. Frank Tumwebaze.
Omusumba nabakulembeze ba Fort Portal bawadde obweyamu obwokulwana okulaba nga olunaku luno lutuukirizibwa mungeri eyenjawulo.
Wategekeddwawo omusaba okwenjawulo ku Kittante Primary School,okusonderako ensimbi z’okukwasizaako omulimu guno.
Asabye bannauganda okubakwasizaako nga bawaayo ensimbi.
Bank A/c No. 3203286953 oba ku ssimu 0753 503 354 , 0771 963 204 mu mannya ga Robert K. Muhiirwa