Minister w’amawulire, Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek Israel Kazibwe Kitooke afulumizza enteekateeka y’okutereka Nnaalinnya Gertrude Tebattagwabwe.
Ku Friday nga 09 May,2025;
Omubiri gwa kugyibwa mu funeral home ku ssaawa musanvu ez’emisana gutwalibwe ku lutikko e Namirembe okumusabira.
Oluvannyuma atwalibwe mu makaage e Seguku nayo wajja kubaayo okusaba.
Saturday 10 May,2025;
Ku ssaawa bbiri ez’okumakya Omubiri gwa Nnaalinnya gwa kutwalibwa ku kkanisa ya St. Apolo Kivebulaaya e Seguku, bamusabire.
Oluvannyuma omubiri gwe gwakutwalibwa e Namasanga Wakiso gye yalaama okuterekebwa ku ssaawa munaana (2pm) ez’olweggulo.
Nnaalinnya Gertrude Catherine Tebattagwabwe,
Azaalibwa Omulangira omukulu George William Mawanda e Salaama era muzzukulu wa Ssekabaka Daudi Chwa II.
Yazaalibwa nga 5 May,1945 era ku lunaku kweyawerezza emyaka 80 egy’obukulu, lwefiiriddeko.
Yafumbirwa Omwami we Eliab Disan Ssempala ne bazaala ba Naava ne ba Ssaaza. Eby’embi omwami we yatemulwa mu 1988 naamulekera abaana era abakuzizza yekka.
Aludde nga mukosefu okuva mu biseera bya Covid19 mu 2020, kyokka nga abadde afuna obujjanjabi obusaanidde.
Gutusiinze nnyo ayi Beene, twakuumye bubi!