Enteekateeka y’okwongera omutindo ku kasasiro ayoolebwa mu kibuga Kampala mukolebwemu ebintu ebirala eby’omugaso esuubirwa okutandika omwaka ogujja.
Okusinziira ku kitongole ekiddukanya ekibuga Kampala ki KCCA, buli lunaku Kampala avaamu kasasiro asussa tanni 2200, n’ayiibwa mu bitundu bye Kiteezi.
Akulira ebyobulamu mu KCCA Dr.Daniel Okello agambye nti bannakampala bakyalemereddwa okussa mu nkola entegeka y’akasasiro obulungi ng’ebintu ebivunda babyawula nebitavunda.
Agambye nti kino kye kimu ku bikyalemesezza kasasiro okuggwa mu kibuga, kwotadde n’abamumansa buli wamu nekiremesa obukyafu okugwawo n’endwadde eziva ku buligo okweyongera.
Etteeka erikwata ku kasasiro mu kibuga erya city solid waste management 2000, liragira buli muntu okuteekateeka obulungi kasasiro gwakungaanya, okutuusa KCCA lwejja nemusombawo okutwalibwa e Kiteezi.
Ayogerera ekitongole kya Nabugabo Up-deal Joint Venture ekimu ku biyoola kasasiro mu Kampala, Ssonko Abdul agamba nti ng’ogyeko okwongera okusaawo enkola eziyoola kasasiro mu kibuga,bagala bamugatteko omutindo nga bamukolemu ebintu ebirala eby’omugaso okufunamu ensimbi n’okutaasa obutonde bw’ensi.
Eno yeemu ku nteekateeka eyanjuddwa ku mikolo egy’okukuza olunaku lw’okwefumintiriza ku butonde bwensi olukuzibwa buli nga 5 June, n’okujjukirirako omutandisi wa kampuni ya Nabugabo Updeal joint venture, Al-Hajj Abdul Musa Ssenyondo, eyakulemberamu olutalo lwokulwanyisa ebisaaniko mu Kampala.
Mayor wa Kampala Central division Salim Uhuru Nsubuga, agamba nti ebitundu naddala ebyenzigotta byebikyasinzeemu obuzibu bwa kasasiro.