Entambula esanyaladde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka mu kitundu kye Busega,ekitundu ky’oluguudo awayita ab’ebigere bwekyabise.
Police etaddewo obupande obulabula ab’ebudduka okubeera ab’egendereza nga bayita mu kitundu ekyo.
Emmotoka zitambula kasoobo ekireseewo omugotteko gw’ebidduka ku nguudo zonna ezigatta ku kitundu ekyo, omuli n’oluguudo lwa Northern bypass okuva e Masanafu okutuuka e Busega.
Kigambibwa nti ekitundu ekiguddmu kivudde ku mugga Lubigi okujula negubooga, nga kiva ku nkuba efudemba ennaku zino.
Allan Ssempebwa omwogezi w’ekitongole kye by’enguudo mu ggwanga agambye abakozi babwe batuuse mu kitundu ekifunye obuzibu era kigenda kukolebwako mu bwangu, obutayongetmra kukosa byantambula.
Police eragidde abantu abagenda e Kyengera n’okweyongerayo, bakozese oluguudo olumanyiddwa nga ku Lukadde oluva e Nateete okwoleekera Nakawuka batuuke e Kyengera.#