Entambula esannyaladde ku luguudo oluva e Jinja okudda e Kamuli akagga ke Kagoma Muguluka mu kitundu kye Buwenge kabooze nekasalamu ekkubo.
Nnamutikkwa w’enkuba afudembye akosezza ekitundu kyonna, era n’ennyumba ezimu azirese ku ttaka, saako okukuluggusa ebirime.
Abavubuka abalina amaanyi bagumbye ku luguudo okwenogera ku nsimbi, nga baweeka abantu okubasaza amazzi n’okwetikka ebintu, saako okusindika bodaboda eziba ziwagamidde.
Bisakiddwa: Kirabira Fred