Entambula esanyaladde ku luguudo oluva e Mateete okudda e Kyabakuza-Masaka, omugga Kakyinga gubooze amazzi n’eganjaala.
Mmotoka eziwerako okuli ezetise ebyamaguuzi saako entono ez’abuyonjo ne takisi nnyingi zeremereddwa okuyita mu mugga guno olw’amazzi aganjaadde buli wamu ekivuddeko n’ebigoma ebimu okubbomoka.
Abasaabaze abakozesa oluguudo luno bibasobedde kuba n’egyebaliyise e Luwunga saako e Mbiriizi ne Nsangala okudda e Masaka wewasooka okwononeka olwamazzi awamu n’ebinnya, nga kaati omuntu okutuuka e Mateete aba alina kuyita mu Nnyendo nadda e Villamaria – Sembabule- Mateete.
Waliwo abavubuka abenogedde ennusu nga bano babade basituula abantu n’okubaweeka ku migongo okubasomosa.
Abakozesa oluguudo luno basabye abakulembeze ba District okutuukirira ekitongole kya UNRA okubakolera omugga guno kuba n’ogwa Kyojja gwebaakakola ate nagwo balaba gutandiise okukuba enjatika.
Bisakiddwa: Jimmy Ssekabiito