Entambula esannyaladde ku luguudo olugatta district ye Gomba neye Butambala wakati w’eggombolola eye Ngando, Kyegonza ne Kabulassoke, amazzi g’omugga Ssembula gasazeemu oluguudo.
Oluguudo olukoseddwa luva mu Kabuga ke Bugobango mu ggombolola ye Ngando Butambala okudda e Kakoma mu ggombolola ye Kyegonza, okugatta ku Lugaaga Gomba okutuuka e Kabulassoke mu Gomba..
Omugga Ssembula gusaliddeko wakati wa Bugobango ne Kakoma.
Akulira ekitongole kya government ekyeby’enguudo ki UNRA ettabi erye Mpigi Engineer Ssonko George agambye nti bakoze entegeka y’okufuna ebigoma byebagenda okutwala ku mugga ogwo bagutiindire.
Annyonyodde nti baweerezza ne tractor ezigenda okuddamu okukola oluguudo olwo oluwezaako kilomita 15, zigenda kutandikira Kabulassoke mu Gomba nga zidda kuludda olwe Butambala.
Bisakiddwa: Patrick Sserugo