Ensisinkano eyayitiddwa akakiiko ka parliament akalondoola eby’obusuubuzi n’amakolero saako akakiiko ka parliament akalondoola eby’ensimbi, okusala amagezi g’okumalawo akediimo k’abasuubuzi akawezezza ennaku eziwerako, tevuddeemu kalungi, zoolekedde eri omukulembeze w’eggwanga nti yaaba azisalawo.
Ensisinkano yetabiddwaamu minister w’ebyensimbi Matia Kasaija ,minister omubeezi ow’ebyobusuubuzi Gen Wilson Mbadi ,ssenkulu wekitongole ki URA John Rujoki Musinguzi n’abakulira ebibiina by’abasuubuzi mu ggwanga
Minister w’ebyensimbi n’okuteekerateekera eggwanga Matia Kasaija awanjagidde abasuubuzi bekube mu kifuba baggulewo amadduuka baddemu okukakalabya emirimu, nga government bwesala amagezi okugonjoola ensonga ezibaluma.
Minister Kasaija agambye nti eggwanga lifiiriddwa omusolo olw’amadduuka okuggalibwawo, eggwanga l nabasuubuzi bennyini kwekubawanjagira baddeyo bakole
Minister Kasaija agambye nti olunaku olwenkya olwa Friday nga 19 April,2024 werunaazibira, abasuubuzi baggya kuba bategedde government weyimiridde ku nsonga zino, wabula baddeyo baggulawo amadduuka bakole eggwanga lireme kukosebwa
Wabula ssenkulu wa URA John Musinguzi Rujoki asinzidde mu kakiiko kano naagamba nti URA yakugenda mu maaso n’okukungaanya omusolo okuyita mu nkola ya EFRIS, ey’okukungaanya omusolo ng’ekozesa tekinologiya wa Electronic Fiscal Receipting and Invoicing Solution.
John Rujoki Musinguzi agambye nti enkola ya EFRIS ssiyakatandiikawo, yatandiika dda mu mwaka 2019 era ssi mpya, wabula nebweyali etandiika abasuubuzi bagisimbira ekkuulu.
Agambye nti bannamakolero bbo enkola eno baagissa dda mu nkola era tebeemulugunya wabula abasuubuzi abamadduuka bebagisimbira ekkuulu
Agambye n’engaSsi ennene eyemulugunyizibwako abasuubuzi, ekubwa olwobutakozesa nkola ya EFRIS yalambikibwa mu tteeka ly’omusolo gwa Value Added Tax, ekitongole ki URA kyeriteekesa mu nkola.
John Musinguzi alambuludde nebirungi ebiri mu kukozesa enkola ya EFRIS eri bannannyini business okuli okuyambako bannanyini business okulondoola eby’amaguzi ebiba bitundiddwa, okuyambako business ezo okugerekerwa omusolo okusinziira ku bitundiddwa n’ebirala
Abasuubuzi bemulugunya nti enkola eno ebanyigiriza, nti kubanga ng’abasuubuzi balina ebintu bingi byebasiinziirako nga batunda eby’amaguzi ebyenjawulo, awatali kutunuulira magoba gabiriko oba nedda, sso nga URA kyokka kyeyesigamyeko.
Bagala government ekendeeze n’omusulo gwa VAT guve ku bitundu 18% okukka ku bitundu 16%.
Bagala ekome ne ku bagwiira abaggya mu Uganda okukola nga bamusigansimbi, nebakomekkereza nga bazze mu kukola business entono ezaandikoleddwa bannaUganda.