Parliament etandise okwekenneenya ensonga y’Abanyarwanda abaazaalibwa mu Uganda abegattira mu kibiina ekya Bavandimwe, abagambibwa nti bazze basosolebwa ebitongole bya government nti nga bibayisa ng’abagwiira.
Ekiwandiiko ekirimu okwemulugunya kwabavandimwe kisomeddwa mu Parliament eyawamu okuva eri omubaka wa Kalungu West Joseph Ssewungu Gonzaga.
Kigamba nti abavandimwe bano baludde nga basosolwa ng’era balangibwa butaba bannansi ba Uganda ekintu kyebagamba nti sikyabwenkanya gye bali.
Ssewungu agamba nti abavandimwe bano baludde nga bawandiikira ebitongole bya government ebyenjawulo ku nsonga yo’kummibwa endagamuntu ne passport naye nga tebafuna kuddibwamu.
Sipiika wa Parliament Anita Annet Among w’asinzidde nasindika ensonga eno mukakiiko ka palamenti ak’ebyokwerinda ne nsonga z’omunda muggwanga ng’era akakiiko kano akalagidde okukomyawo alipoota enambulukufu kunsonga eno obutasukka nnaku 45 olwo Palamenti ewe ensalawo yaayo.
Bisakiddwa: Nabagereka Edithie