Abatuuze abawangaalira mu bizinga bye Ssese beraliikirivu, bagamba nti Ensoke (omuyaga ogw’amaanyi gusituka mu nnyanja) eyabakubye ku lwomukaaga oluyise yandiddamu okubakosa, olw’ebizinga ebitakyaliko bibira mweyinza kuwummulira.
Ensoke eyayise ku Saturday nga 15 March,2025, abatuuze bagamba nti zaabadde ssaawa emu n’ekitundu eyokumakya, yalese esse abantu 3 n’abalala 13 nga balumiziddwa.
Abaafudde kuliko Wasswa Hassan, omulala yateegerekeseeko lya Godfrey ne Mike Mujaasi omusirikale wa police abadde akolera ku police ye Kalangala.
Ensoke eno yasiinze kugoya ebizinga Mweena ne Buggala, era ng’amayumba g’abatuuze abakunukkiriza mu 300 gaasigadde ku ttaka n’ebintu ebirala bingi nebyonooneka.
Abatuuze bagamba nti Ensoke emyaka mingi emabega ezzeenga eyita, wabula nga tebakosa nnyo kubanga waalingayo ebibira bingi mweyasobolanga okuwummulira, wabula ebibira bino bisanyiziddwawo, nemussibwamu essamba z’ebirime, n’ebirala nebisengebwamu abantu.
Musoke Benard omutuuze ku kizinga Buggala agamba nti Ensoke bagimanyi ng’omuyaga ogw’amaanyi ogusibuka mu nnyanja n’amaanyi mangi, era etumbiiza amazzi mu bbanga negabeeranga agekutte ku kire.

Annyonyodde nti amazzi ago olutuumbiira tewayita ddaakiika nnyingi omuyaga negukunta nga bwegugoya emiti n’ebintu byonna ebiba biriraanyeewo saako n’enkuba okutonnya nga yamaanyi.

Musoke agamba nti Ensoke eno ku maanyi gesitukiramu, esobola n’okusitula omuntu neemukanyuga mu bbanga, singa emusanga mu kkubo mweba esazeewo okuyita.
Ensoke ng’esimbye mu mazzi, bwoba ogirengerera wala erabika ng’akale akava mu mazzi nekakwata ku bire mu bbanga, era kafaananira ddala nga Musoke (rainbow), wabula yo ensoke ebeera ne langi emu eyakikuusikuusi.#