Akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga aka Electoral Commission of Uganda kayimirizza okuteeka mu nkola enongoosereza ezaali zikoleddwa mu ssemateeka w’ekibiina ki National Unity Platform.
Ebinaddirira byakusalibwawo oluvannyuma ng’omusango ogwawaabwa mu kooti enkulu nga ba kasangwaawo b’ekibiina ki NUP beemuulugunya ku kutyoboola ssemateeka waakyo nga guwedde.
Okusalawo kuno kuvudde mu nsisinkano ebadde wakati wa bannakibiina ki NUP naddala abaakitandikawo, wamu n’ekiwayi kya Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine n’akakiiko k’ebyokulonda bwe bakkiriziganyizza balinde ebinaava mu kooti.
Paul Ssimbwa omu ku bannakibiina ba kasangwaawo , agamba nti omusango gwabwe guli mu kooti, era nga omulamuzi yawadde banna kibiina ki NUP bewozeeko.
Nkonge Moses Kibalama ne banne okuli Paul Ssimbwa Kagombe, Luyinda Moses Omony Wilbert ne Kasirye Joseph Emmanuel bagamba nti bebaatandika National Unity Platform NUP nti kuba yeyubula kuva mu National Unity Reconciliation and Development party NURP.#