Obuwumbi bwa shillingi 150 bwebukyasigaddewo ku buwumbi obusoba mu 300, obwénsimbi ezaali zaawebwa government ya Uganda okulwanyisa ekirwadde kya ebola.
Obuwumbi 150 zezimu ku zisuubirwa okukozesebwa okusasula agamu ku mabanja agaasigalawo omuli abasawo nábakozi abalala.
Ensimbi obukadde bwa doola 81 bwe buwumbi obukunukiriza mu 300 ezaweebwa Uganda , okwanganga ekirwadde kya Ebola ekyabalukawo mu mwezi gwa september omwaka oguyise.
Dr.Daniel Kyabayinze, akulira ebyobujjanjabi ebyolukale mu ministry y’eby’obulamu agamba nti enteekateeka ezassibwawo okulwanyisa ebola obutasaasaaya, kyekyabayamba obutasaasaanya nsimbi nnyingi.
Dr. Daniel Kyabayinze ategezezza Cbs nti enteekateeka z’okukwasizaako ebyobulamu ebirala zitandise okulowoozebwako mu nsimbi ezasigaddewo.
Wadde nga waliwo abasawo abakyabanja, Dr. Kyabayinze agambye nti bano ensonga balina kuzikwata bulungi baleme okweyonoonera ebiseera byomumaaso.
Ekirwadde kya Ebola kyabalukawo mu september wa 2022 mu district ye Mubende ne Kassanda, government n’ezissaako omuggalo gwa myezi ebiri.
Okusinziira ku ministry yébyóbulamu, abantu 143 bebaazuulwa nékirwadde kya Ebola, abantu 56 bebaafa.
Bisakiddwa: Ddungu Davis