• Latest
  • Trending
  • All
Eno ye Ntanda: Emitawaana emingi –  gikuliza enjala ku ngalo

Eno ye Ntanda: Emitawaana emingi –  gikuliza enjala ku ngalo

December 7, 2023
Trinity College Nabbingo ejaguzza emyaka 84 okuva weryatandikibwawo – Katikkiro Mayiga asabye amasomero okuyambako abaana okumanya obuwangwa n’ennono zabwe

Trinity College Nabbingo ejaguzza emyaka 84 okuva weryatandikibwawo – Katikkiro Mayiga asabye amasomero okuyambako abaana okumanya obuwangwa n’ennono zabwe

June 14, 2026
Omutaka Gabunga akunze abavubuka okwenyigira mu mirimu gy’ebika byabwe – ab’essiga lya Kagenda bamwanjulidde enteekateeka y’okukyusa obwannanyini bw’ettaka ly’essiga lidde mu kika

Omutaka Gabunga akunze abavubuka okwenyigira mu mirimu gy’ebika byabwe – ab’essiga lya Kagenda bamwanjulidde enteekateeka y’okukyusa obwannanyini bw’ettaka ly’essiga lidde mu kika

June 14, 2026
Kyadondo ne Buweekula tewali alabye katimba ka munne – mu mupiira ogugguddewo empaka z’amasaza ga Buganda 2026

Kyadondo ne Buweekula tewali alabye katimba ka munne – mu mupiira ogugguddewo empaka z’amasaza ga Buganda 2026

June 13, 2026
Omupiira oguggulawo empaka z’Amasaza 2026 guli mu kisaawe kya Mubende NTC – wakati wa Buweekula ne Kyadondo

Omupiira oguggulawo empaka z’Amasaza 2026 guli mu kisaawe kya Mubende NTC – wakati wa Buweekula ne Kyadondo

June 12, 2026
Omupiira oguggulawo empaka z’Amasaza 2026 guli mu kisaawe kya Mubende NTC – wakati wa Buweekula ne Kyadondo

Elon Musk ye Nnaggagga asoose okufuuka Trillionaire munsi yonna

June 12, 2026
Obwakabaka  bulangiridde olukiiko oluteekateeka  Amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka Mutebi II ag’emyaka 33 – gakukuzibwa mu kanisa ya Watoto nga 31 July,2026

Obwakabaka bulangiridde olukiiko oluteekateeka  Amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka Mutebi II ag’emyaka 33 – gakukuzibwa mu kanisa ya Watoto nga 31 July,2026

June 12, 2026
Abasajja abagambibwa okutta Sydney Gongodyo eyali omuzannyi wa Rugbay – basiindikiddwa ku alimanda e Luzira okutuusa nga 23 June,2026

Abasajja abagambibwa okutta Sydney Gongodyo eyali omuzannyi wa Rugbay – basiindikiddwa ku alimanda e Luzira okutuusa nga 23 June,2026

June 12, 2026
Empaka za FIFA world Cup 2026 zigguddwawo – Mexico ekubye SouthAfrica 2 -0

Empaka za FIFA world Cup 2026 zigguddwawo – Mexico ekubye SouthAfrica 2 -0

June 12, 2026
Embalirira ya Uganda esomeddwa ey’omwaka 2026/2027-essira lissiddwa kukusitula eggwanga lyonna okutambulira ku mutindo gw’ebibuga

Embalirira ya Uganda esomeddwa ey’omwaka 2026/2027-essira lissiddwa kukusitula eggwanga lyonna okutambulira ku mutindo gw’ebibuga

June 11, 2026
Katikkiro Mayiga agguddewo mu butongole omwoleso gwa CBS PEWOSA 2026 – atenderezza CBS FM olw’okuweza emyaka 30 ng’eweereza

Katikkiro Mayiga agguddewo mu butongole omwoleso gwa CBS PEWOSA 2026 – atenderezza CBS FM olw’okuweza emyaka 30 ng’eweereza

June 11, 2026
Government ya Uganda egenda kwewola ensimbi obuwumbi bwa shs 730 –  okukwasizaako abalimi okufukirira ebirime

Government ya Uganda egenda kwewola ensimbi obuwumbi bwa shs 730 – okukwasizaako abalimi okufukirira ebirime

June 11, 2026
Tewali munnauganda yazuuliddwamu kirwadde kya Ebola mu nnaku 5 eziyise –  president Museveni agumizza bannauganda nti obulamu busiinga ensimbi

Tewali munnauganda yazuuliddwamu kirwadde kya Ebola mu nnaku 5 eziyise – president Museveni agumizza bannauganda nti obulamu busiinga ensimbi

June 10, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Eno ye Ntanda: Emitawaana emingi –  gikuliza enjala ku ngalo

by Namubiru Juliet
December 7, 2023
in BUGANDA
0 0
0
Eno ye Ntanda: Emitawaana emingi –  gikuliza enjala ku ngalo
0
SHARES
145
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Omutendera Kinyoolankoto mu program Entanda ya Buganda gutandise na maanyi ku CBS FM 88.8,  abamegganyi entuuyo obwedda bazisaza bibatu.

Abamegganyi Kiberu Kizito Kamya eyafunye obugoba 28 ne Sserwadda Samuel eyafunye obugoba 18 baayiseewo okwesogga olumeggana oluddirira olusembayo, ate Ssempijja Nyansio eyafunye obugoba 12 yawanduse.

Biibino ebibuuzo by’Entanda nga 06.11.2023

1. Mpa omuzizo gumu omukulu oguli wakati w’Omulangira asikira empewo z’Obwakabaka ne Ssaabasajja –  Tebaddamu kulabagana

2. Enjawulo wakati w’ennyumba Musooliini ne busitoowa –  Ennyumba eya musooliini eserekebwa ng’eyiwa ku luuyi lumu ate busitoowa eyiwa ku njuyi bbiri mu maaso n’emabega

3. Amakulu agali mu kisoko, Okutega mu kyole –  Okubeera awantu woosuubira ebintu ebingi

4. Ani yawandiika ekitabo Gwolulambuza – Kivumbi Bantubalamu

5. Bakuseera takwazikwa, lugero, luyigirizaaki? –  Lutuyigiriza okubeera abeegendereza ku magezi agatuweebwa bannaffe

6. Ekika ekirina eryato omwaleeterwanga amakula agaaleeterwanga Kabaka okuva e Kyaggwe, kika ki ekirina eryato eryo? –  Njaza

7. Mpa amannya ga Nnamasole wa Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II eyasooka –  Sarah Kisosonkole

8. Obubonero bubiri kwomanyira ekinyonyi ekirya ennyama –  Omumwa gwakyo gubaako eddobo n’enjala z’ebigere byakyo ziba n’eddobo

9. Amannya g’Omulangira asikira empewo z’Obwakaba zonna? –  Omulangira Juma Kateebe/Katebe

10. Enjawulo wakati w’enju y’ensiisira n’ekiteeteeyi –  Ensiisira yonna eba ebunye essubi ate ekiteeteeyi ebaako essubi waggulu kyokka nga wansi nkube obudongo

11. Okusigala mu malye kisoko kitegeeza ki? – Okusigala mu buzibu nga tolina ayamba

12. Tokiiya ngonge nto, kitabo ani yakiwandiika?  – Robert G Mukasa

13. Gwowonya eggere, olugero olwo lutuyigiriza ki? –  Lutuyigiriza okubeera abeegendereza eri abo betuyamba

14. Waliwo ente ya Kabaka eyitibwa Mbulidde, kika ki ekirunda ente eyo? –  Mpindi

15. Amannya ga Ssaabaganzi w’omulembe guno? –  Ssaalongo Emmanuel Ssekitooleko

16. Lwaki embaata esobola okuwuga ate ng’enkoko tesobola? –  Ebigere byayo ebibyabyatavu bigiyamba okukuba amazzi

17. Omulangira asikira empewo zonna ez’Obwakabaka omutuba gwe guli Kibanga, gusangibwa mu ssaza ki? – Bulemeezi

18. Enjawulo mu bigambo ng’ekyokuddamu okyesigamizza ku nnyumba> Ekifulukwa n’Omusekese – Ekifulukwa y’ennyumba eyavaamu abantu ate omusekese eba tennaserekwa

19. Okugalinnya gyegava,kisoko kitegeeza ki? –  Okwereetera ebizibu

20. Ani yawandiika ekitabo Amaggwa n’emitego mu buvubuka? –  Ruth Kaboggoza (Najjuuko)

21. Mmaali yatokomoka agula magi nansuwa, lugero lutuyigirizaaki? – Tusaana okuba abeegendereza nga tusalawo kyetuba tugenda okukola

22. Ab’eddira effumbe mu mubala gwabwe mulimu ekisoko. Kakozaakoza…. Kaba kaki? – Oluwombo

23. Nnamasole wa Kabaka Ronald Muwenda  Mutebi II aliko kati? – Owek Nantongo Damalie Muganzi

24. Akabonero akamu kwoyinza okumanyira ekinyonyi ekirya ebibala -Kirina omumwa musongovu nga muwanvu

25. Mpaayo ensonga bbiri ez’ennono ezireetera omuti ogw’omutuba okuba ekyobuwangwa eri Omuganda ng’ojjeeko eky’okujjako enku? –  Guyimbulwako olubugo era n’okubajjamu amaato

26. Edda waabeerangawo abantu abaayitibwa nga abatete, baakolanga mulimu ki? –  Baalinga bakuumi babaka Beene

27. Omuzizo omukulu gumu ogudda ku kukoola entungo –  Tebakooza nkumbi

28. Wambwa ayiggira agage n’agamukamaawe. Gaba maki? –  Amaddu

29. Okujjula ebitayidde kitegeeza ki? –  Okupapira ekintu nga kibadde tekinnatuuka

30. Olugero: Byakuno –  Tasenguka agoba baggya

31. Ebizibu bibiri ebireetebwa obuveera nga bidda eri obutonde bwensi – Bulemesa amazzi okuyingira mu ttaka ate tekavunda olwo nebutakola ttaka

32. Bwebaba batunda ekintu naddala nga kikadde wabeerawo omujulizi, aweebwa linnya ki? – Ngobolo

33. Enkejje zebayita ez’emazinga, lwaki baziyita batyo? –  Kubanga zijjibwa mu bizinga by’e ssese

34. Olugero: Emitawaana emingi –  gikuliza enjala ku ngalo

35. Omulangira bweyali ali e Kibulala yasuulibwa mu lusenyi omusibuka omugga, mugga ki ogwo? –  Kitumbi

36. Woofunira lyerimu ku mannya agatuumibwa mu Buganda kiva ku ki? –  Omuntu waafunira ebirungi ate nga bazadde be tebaliiwo

37. Amannya agayinza okuweebwa akaana k’ente akafudde? – Ensogobe oba akatoloogo

38. Okusimba obwanda kisoko kitegeeza ki? –  Okubeera awantu n’otaviirawo ddala

39. Ebintu bibiri eby’ennono Omuganda byakola okutangira ensanafu okuyingira mu nju ye?  – Okumansira evvu n’okusuula amalagala okwetooloola enju

40. Ebintu okukuba ng’emisu kitegeeza ki? – Ebintu okubeera ebingi ennyo

41. Ensiisira z’omulumbe zimenyebwa ddi? – Mu mukolo gwokukooza

42. Olugero: Kikira obusa – afumbirwa muggavu wa matu

43. Omuntu gwebatuuma erinnya Ssekamuli kansaze aba afaana atya? –  Aba awakula nnyo entalo

44. Okumulisa kitegeeza ki? –  Ekimera okumulisa n’ekikolwa ky’okutta enswa ekiro

45. Ekikolwa kyokussa akatiba mu lyato omuli omwenge kiweebwa linnya ki? –  Okututubika

Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo. K

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Trinity College Nabbingo ejaguzza emyaka 84 okuva weryatandikibwawo – Katikkiro Mayiga asabye amasomero okuyambako abaana okumanya obuwangwa n’ennono zabwe
  • Omutaka Gabunga akunze abavubuka okwenyigira mu mirimu gy’ebika byabwe – ab’essiga lya Kagenda bamwanjulidde enteekateeka y’okukyusa obwannanyini bw’ettaka ly’essiga lidde mu kika
  • Kyadondo ne Buweekula tewali alabye katimba ka munne – mu mupiira ogugguddewo empaka z’amasaza ga Buganda 2026
  • Omupiira oguggulawo empaka z’Amasaza 2026 guli mu kisaawe kya Mubende NTC – wakati wa Buweekula ne Kyadondo
  • Elon Musk ye Nnaggagga asoose okufuuka Trillionaire munsi yonna

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist