• Latest
  • Trending
  • All
Eno ye Ntanda: Ekituulirizi – kimala enku n’amazzi

Eno ye Ntanda: Ekituulirizi – kimala enku n’amazzi

December 2, 2023
Katikkiro Mayiga alangiridde nti omulimu gw’okuzzaawo amasiro ge Kasubi guwedde oluvannyuma lw’emyaka 12 lwegaayokebwa omuliro – obulombolombo bwonna butuukiriziddwa

Katikkiro Mayiga alangiridde nti omulimu gw’okuzzaawo amasiro ge Kasubi guwedde oluvannyuma lw’emyaka 12 lwegaayokebwa omuliro – obulombolombo bwonna butuukiriziddwa

December 12, 2025
Ssentebe wa district ye Kitagwenda asindiikiddwa ku alimanda okutuusa omwaka ogujja 2026 – avunaanibwa gwakusaba bantu ensimbi ng’abasuubizza emirimu naatagibawa

Ssentebe wa district ye Kitagwenda asindiikiddwa ku alimanda okutuusa omwaka ogujja 2026 – avunaanibwa gwakusaba bantu ensimbi ng’abasuubizza emirimu naatagibawa

December 12, 2025
BannaNUP abaali begwanyiza okuvuganya mu kalulu ka 2026 ku bifo by’ababaka ba parliament nebatafuna kaadi – bekozeemu akabombo basigale nga bamugaso mu by’obufuzi by’eggwanga

BannaNUP abaali begwanyiza okuvuganya mu kalulu ka 2026 ku bifo by’ababaka ba parliament nebatafuna kaadi – bekozeemu akabombo basigale nga bamugaso mu by’obufuzi by’eggwanga

December 11, 2025
Alipoota ku nsimbi ezireeteddwa mu nkola ya Luwalo Lwange ow’omwaka 2025 – akawumbi ka shs kamu n’obukadde 760 zezireeteddwa

Alipoota ku nsimbi ezireeteddwa mu nkola ya Luwalo Lwange ow’omwaka 2025 – akawumbi ka shs kamu n’obukadde 760 zezireeteddwa

December 11, 2025
Dr.Sam Kazibwe omuweereza ku CBS agattiddwa mu bufumbo obutukuvu n’omukyala Sonia Babirye

Dr.Sam Kazibwe omuweereza ku CBS agattiddwa mu bufumbo obutukuvu n’omukyala Sonia Babirye

December 10, 2025
Buganda ne bannamikago batongozza enteekateeka y’okusonda ensimbi ez’okugula eryato erinassibwako eddwaliro eritambulira ku mazzi

Buganda ne bannamikago batongozza enteekateeka y’okusonda ensimbi ez’okugula eryato erinassibwako eddwaliro eritambulira ku mazzi

December 11, 2025
MTN ekuleetedde Enkuuka bando Bwaguuga – osigale ng’owuliziganya n’abantu nga bw’onyumirwa enkuuka nga 31 December,2025

MTN ekuleetedde Enkuuka bando Bwaguuga – osigale ng’owuliziganya n’abantu nga bw’onyumirwa enkuuka nga 31 December,2025

December 10, 2025
Abantu 4 bafiiridde mu kabenje akagudde e Mubende abalala 20 bapooca – babadde bagenda kuziika

Abantu 10 bafiiridde mu kabenje akagudde e Busowa ku luguudo lwa Bugiri – Tororo

December 10, 2025
Bannauganda abakolera mu Nyakuron Market mu SouthSudan bali mu maziga olw’emmaali yabwe eyasirikkidde mu muliro

Bannauganda abakolera mu Nyakuron Market mu SouthSudan bali mu maziga olw’emmaali yabwe eyasirikkidde mu muliro

December 9, 2025
Mathias Walukagga agobeddwa mulwokaano lw’okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Busiro East mu kalulu ka 2026 – NUP esazeewo okuddukira mu kooti okuwakanya ensala eno

Mathias Walukagga agobeddwa mulwokaano lw’okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Busiro East mu kalulu ka 2026 – NUP esazeewo okuddukira mu kooti okuwakanya ensala eno

December 9, 2025
Police ekutte 2 abateeberezebwa okutemula omuyizi w’essomero lya Kitebi SS

Asse munne neyetwala ku police e Luweero – amulaanze kubba biscuit we

December 9, 2025
Akakiiko k’ebyokulonda kagobye Mutabwire Patrick Kyamukaate ku by’okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa parliament akiikirira abakadde – emikono gy’abamusemba tegiwera

Akakiiko k’ebyokulonda kagobye Mutabwire Patrick Kyamukaate ku by’okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa parliament akiikirira abakadde – emikono gy’abamusemba tegiwera

December 8, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Eno ye Ntanda: Ekituulirizi – kimala enku n’amazzi

by Namubiru Juliet
December 2, 2023
in BUGANDA
0 0
0
Eno ye Ntanda: Ekituulirizi – kimala enku n’amazzi
0
SHARES
154
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Abamegganyi; Bukenya Francis eyafunye obugoba 22 ne Nnassiwa Prossy eyafunye obugoba 17 baasuumusiddwa okweyongerayo mu lumeggana oluddako, ate Ssemmanda Joel eyafunye obugoba 14 yawanduse.
Biibino ebibuuzo by’Entanda nga 01 December,2033

1. Kabaka bweyali agenda okukuba enkanamu yatwalira bazadde ba mukazi we ebirabo. Yatwalira bazadde b’omuzaana endaalira

2. Amakulu g’olugero. Yogera byenjogera lwoliwangaaza amatu go – Olina okuwa abakusinga ekitiibwa

3. Ani yawandiika ekitabo Guluma yaguzza – Yozefu Ndawula

4. Emikolo egy’ennono egikolebwa nga tweyambisa magi  – Bwebaba banaatambuza omulambo, gagabulwa emisambwa

5. Omuntu bwayambala n’anyuma tumwogerako nti afuuse omutaka w’o Mukimwanyi., yaani? –  Mwambala butonnya

6. Muteesa nga tannalya ngoma yamala ebbanga ng’abeera mu kisaakaate ky’Omwami, Ani? –  Stanslus Mugwanya

7. Amakulu g’ekigambo embwa – Obuwuka obubeera mu mmwanyi n’ensolo

8. Obote yalumba olubiri lwa Muteesa nga 24 May 1966, waakayitawo emyaka emeka? –  57

9. Tereeza Sentensi, Embuga ya Kabaka Mutebi II eri Mengo – Olubiri lwa Kabaka Mutebi luli Mengo

10. Amakulu g’olugero. Akabwa keweeyolera kekakuluma enteega – Omuntu gwoyambye asobola okukuyisa obubi

11. Ani yawandiika ekitabo Ndikumma Okulya? – SK Mpalanyi

12. Emikolo gy’Abaganda ebiri okutabula nkoko –  Okusengula omufu, Okwanjula n’okwanjulwa

13. Bwetugamba nti Mugoziita yafuuka w’e Bbembe tuba tutegeeza nti Mubbi, yaani? – Musikula

14. Omwami eyalina ekisaakaate omwabeerako omulangira Muteesa nga tannalya Ngoma era nga yoomu kubaakuza Kabaka Chwa II, omwami oyo yalina bukulu ki obulala ku Michwa II? –  Yali mulamuzi

15. Amakulu g’ekigambo akavangata? –  Oluyoola lw’obutiko oba ssente ennyingi

16. Kabaka Muteesa II yava mu buwanganguse mu 1955, waakayita emyaka emeka? – 68

17. Tereeza ssentensi, Nsanze abakuumi b’enzigi z’olubiri – Nsanze abaggazi b’olubiri

18. Amakulu g’olugero. Asamirira amaddu ayigga mbogo – Lutulabula okwagala ennyo ebintu

19. Ani yawandiika ekitabo Gwolulambuza –  Kivumbi Bantubalamu

20. Enkoko eyalujumba efaanana etya? – Enkoko empanga emyufu erimu ebiddugavu

21. Ebintu okubiteeka ku w’e Mbuule kisoko, ow’e Mbuule yaani? – Ssezinnyo

22. Ekisaakaate Kabaka Muteesa II gyeyabeera okumala akabanga kyali ku mutala ki? – Bukeerere

23. Amakulu g’ekigambo enjole – Ekinywa ky’essubi n’omubiri gwa Kabaka ng’aseeredde

24. Uganda yasooka okutegeka olukungaana lwa OAU mu 1975, waakayita emyaka emeka? – 48

25. Omusika omusajja okwasibwa omuggo ogulaga obuyinza bwe, guweebwa linnya ki? – Tonjoogera mwange

26. Enjala z’omuntu ku ntobo zaazo kubaako okuntu obulinga obwetooloovu, buweebwa linnya ki? – Ngo

27. Olugero: Owennimi alaba – Ekimutta kuwaayira

28. Oluusi emisuwa giyinza okutandika okuluma nnyini gyo, kiweebwa linnya ki? – Emiziga

29. Erinnya eddala eriweebwa kasikonda? –  Akabakiro

30. Tereeza ssentensi. Ekiryo kyange kitandise okussaako – Kitandise okusuula

31. Olusaka lwa Nnamasole Mutebi lusangibwa ku kyalo ki? – Lukuli

32. Ekika ky’Abaganda omuva omufuuyi w’ekkondeere lya Kabaka? –  Kkobe

33. Nnamugala linnya ly’Abalangira wano mu Buganda, tuweeyo amakulu g’elinnya eryo eddala –  N’ekinyonyi ekirya empafu

34. Weetegereze olugero, Gafuluuta negatawuluguma, Amaki? – Agasege

35. Waliwo Kabaka abantu gwebaakekkezanga nga basala ku linnya lye nti Ssaaba – Ssekabaka Daudi Cchwa II

36. Erinnya eddala eritegeeza entuuyo eziva mu muntu –  Endezi

37. Obutaka obukulu obw’ekika ky’Envuma busangibwa ku kyalo ki? – Kawempe Kyaddondo

38. Okwetuga kikolwa kibi nnyo era kivumirirwa wano mu Buganda, Omulambo gw’omuntu eyeetuze guweebwa linnya ki? – Omutuggu

39. Mu ntabaalo ezedda bajjajjaffe zebaakolanga, mwabaangamu omusagga, omusagga kye ki? –  Omuge gwebaasibanga ku mutwe

40. Mu lulimi oludda ku byamaguzi, mulimu ekigambo omutengeeto, omutengeeto kyeki? –  Akatinko akabeera ku kyamaguzi ekipya

41. Empologoma ensajja esinga zinnaayo ekitiibwa eriko eddoboozi ly’ekola , kimpe – Okuwuluguma

42. Olugero. Ekituulirizi – kimala enku n’amazzi

43. Waliwo ensolo gyebagamba niti eyinza okuwunyiriza amazzi gyegali nga gali mu bbanga lya mmayiro nga ssatu, nsolo ki? –  Njovu

44. Omuweesi bwakukukolera akambe, omuwa empeera, eweebwa linnya ki? – Omukimba

45. Ani akuba engoma Ssaagalaagalamidde? – Omwami w’ekyalo.

Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Katikkiro Mayiga alangiridde nti omulimu gw’okuzzaawo amasiro ge Kasubi guwedde oluvannyuma lw’emyaka 12 lwegaayokebwa omuliro – obulombolombo bwonna butuukiriziddwa
  • Ssentebe wa district ye Kitagwenda asindiikiddwa ku alimanda okutuusa omwaka ogujja 2026 – avunaanibwa gwakusaba bantu ensimbi ng’abasuubizza emirimu naatagibawa
  • BannaNUP abaali begwanyiza okuvuganya mu kalulu ka 2026 ku bifo by’ababaka ba parliament nebatafuna kaadi – bekozeemu akabombo basigale nga bamugaso mu by’obufuzi by’eggwanga
  • Alipoota ku nsimbi ezireeteddwa mu nkola ya Luwalo Lwange ow’omwaka 2025 – akawumbi ka shs kamu n’obukadde 760 zezireeteddwa
  • Dr.Sam Kazibwe omuweereza ku CBS agattiddwa mu bufumbo obutukuvu n’omukyala Sonia Babirye

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist