Olukiiko lw’ebyokwerinda mu district ye Kalangala luweze ebinaala byonna obutaddamu kusaabaza bantu obudde bw’ekiro.
Ebiragiro bino okuyisibwa kivudde ku kinaala ekyafiiriddemu banna Uganda abasukka mu 20, kyabadde kiva ku mwalo gwe Ntuuwa nga kigenda Kasenyi e Ntebbe.
Ekinaala kino kyabaddeko abantu 34 nga baabadde basaabadde budde bwa kiro.
Police ya balubbira egamba nti ekinaala kyabadde kitisse kabindo ak’abantu n’emigugu, saako embeera y’obudde eyeyongedde okutabangula ennyanja.
Abantu 9 abaabadde bambadde lifejacket bebaawonyeewo.
Ssentebe wa district ye Kalangala Ssemakula Rajab agambye nti mu bbanga lya mwezi gumu bafiiriddwa kati abantu abasukka 30 nga ekizibu kiva kukutambulira ku nnyanja obudde obwékiro.
Ssemakula agambye nti mu kiseera kino ennyanja ssintebenkevu olw’ekissaawa ekiriko, ng’ejjeengo ly’amaanyi n’alabula abalunnyanja okwegendereza mu budde bwebasaabaliramu.
Amagye ne police eya balubbira bayimirizzaamu omuyiggo gw’abantu abalala abaagudde mu nnyanja, olw’embeera y’ennyanja eyeyongedde okutabanguka.
Bisakiddwa: Sharif Lukenge