Mu district ye Amurata ku kyalo Abutataro police eggalidde omukyala Achen Milly, oluvannyuma lw’okutta bba Obua Denis, ng’amulanga okufuna mukyala owokubiri.
Denis Obua nga tannattibwa , kigambibwa nti yafunye kilo z’ennyama bbiri ezabadde eza sekukkulu, nazaawuzaamu wakati nawaako mukyala muto gw’abadde yakafuna, ekyatabudde mukyala mukulu naava mu mbeera n’amukuba n’amutta.
Kigambibwa nti Omugenzi Obua Denis okufuna omukyala owokubiri ,kyava ku butakkaanya obubaddewo wakati wababiri bano, nga buva ku kuzaala abaana abeekikula ekimu.
Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga,agambye nti omukyaala agambibwa okutta bba akwatiddwa, kati alindiridde kutwalibwa mu kooti.#
Bisakiddwa: Kato Denis