
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa olunaku olw’enkya lwasuubirwa okutegeezebwa ebikwata ku tteeka Lya NSSF erirungamya ekittavu ky’abakozi nga bweryayisibwa palament omwezi oguwedde ,ekiwadde abakozi essuubi nti sabiiti ejja omukulembeze w’eggwanga etteeka lino yandirisaako omukono
Parliament omwezi oguwedde ogwe 11,yayisa ennongosereza mu tteeka Lya Nssf mweyakkiririza abakozi abaterese mu kittavu kino okumala emyaka 10 nga bawezeza emyaka 45 egy’obukulu okufuna ku nsimbi zabwe ebitundu 20%.
Palament era munnongosereza zeyayisa ,yakkiriza abakozi abaliko obulemu abawezeza emyaka 40 egy’obukulu nga baterese mu kittavu kino okumala emyaka 10 okufuna ku nsimbi zabwe ebitundu 50%.
Kati ensonda zitubuulidde nti olunaku olw’enkya nampala wa gavument mu palament Thomas Tayebwa lwasuubirwa okwanjulira omukulembeze weggwanga ennongosereza zino nga bwezaayisibwa palamenti , president Museven asalewo oba azisaako omukono.
Usher Wilson Owere ssentebbe w’omukago ogutaba ebibiina by’abakozi agamba nti balina essuubi nti omukulembeze w’eggwanga wakuteeka omukono ku tteeka lino sabiiti ejja ,kubanga byonna ebyakaanyizibwaako mu nsisinkano ezaaliwo nebibiina byabakozi, abantu abakwaatibwaako ekittavu kino n’omukulembeze w’ eggwanga nti byebyo ebyayisibwa palamenti.
Owere agambye nti okuva etteeka lino lweryayisibwa palament abadde eyogerezeganya neba minister abakwatibwako, ku ngeri gyerinatandika okussibwa mu nkola, nga president amaze okulissaako omukono.
Mu kusooka akulira NSSF yali yategeeza nti singa ensimbi ezo ebitundu 20 ku kikumi ziyisibwa nti zaali zakukosa ekitongole, nti kubanga kyali tekirinawo sente mu mpeke zekyali kigenda okuwa abakozi abo abagwa mumutendera ogwo,kubanga zonna zaali zaasigibwa mu bintu ebivaamu sente zongere kuzaala amagoba.
Wabula oluvannyuma yakkiriza n’agamba nti ekitongole bwekiba kiweereddwa wakiri ebbanga lya myezi mukaaga okukungaanya sente ezo, kibeera kisobola okutuukiriza ebyo ebyayisiddwa mu nnongosereza.