
Olukiiko lw’abavubuka mu ggwanga olwa national youth council luwandiikidde minister w’ensonga zobwa president Milly Babalanda, lwemulugunya olw’okusuulibwa kw’ abamu ku bavubuka bannabwe ku bifo byobwa RDC n’obumyuka mu nkyukakyuka ezaakoleddwa.
Olukiiko lw’abavubuka luno lwagala abavubuka abaasuuliddwa baddemu baweebwe ebifo ebirala.
Mu kiwandiiko olukiiko luno olwa National council lwekiwandiikidde minister Babalanda ,lunokoddeyo abamu ku bavubuka abaasuuliddwa okuli Azabo Mahad eyabadde omumyuuka wa RDC mu district ye Apac , Epitu Gady eyabadde omumyuka wa RDc mu district ye Kaabong ,Adunget Jacob eyabadde omumyuka wa RDC mu district ye Pakwach saako Ocen Robert eyabadde omumyuka wa RDc mu district ye Arua.
Abavubuka bano abaasuuliddwa babadde bamyuka baba RDC ,era nga bakulembeze bavubuka mu district zabwe gyebazaalibwa ku kaadi za NRM.
Jacob Eyeru ssentebe wolukiiko lw’abavubuka mu ggwanga mu kwemulugunya eri minister Babalanda, bagamba nti ekyennaku ba RDC bano abaasuuliddwa office ezo babadde bakazimalamu emyezi 13 gyokka.
Bagamba nti okusuulibwa kwabwe kwabalese tebalina mirimu, nti songa babadde bakola emirimu gya tendo emyezi gyebabadde mu office ezo.
President Museven wiiki ewedde yakola enkyukakyuka mu ba RDC nabamyuka baabwe ,era aliko beyasuula nokuwa abalala ebifo,nabamu okubaggya mu bitundu ebimu n’abatwala ewalala.
Mu nkyukakyuka zino mulimu abooludda oluvuganya government abava mu bibiina okuli NUP ne FDC beyalonda, ate aba NRM n’abasuula.
Kino kyekisinze okunyiiza bannaNRM, nebasalawo okuwandiikira minister w’ensonga za president Milly Babalanda ategeeza president Museven nti abavubuka ssi basanyufu wakiri babafunire ebifo ebirala.