Abatuuze ku kizinga Bunjakko ekisangibwa mu gombolola ye Buwama mu district ye Mpigi bali mu maziga ,oluvanyuma lwe nkuba efudembye mu kiro ekikeesezza okqa nga 27 February,okuboononera ebintu.
Enkuba erese amasomero gagudde, amayumba agasoba mu 50 gali ku ttaka, enguudo zibbomose endala zizibye oluvanyuma lw’emiti okugwa neziziba enguudo.
Embeera yeemu ekosezza abatuuze ku kyalo Vvumba- Kapeke mu gombolola ye Muduuma mu District ye Mpigi, bangi ennyumba zabwe zisigadde ku ttaka.#