Abasiirimu sibamativu n’enteekateeka ezikulakulanya abantu ezizze zitondebwawo government omuli emyoga, Parish Development Model ne ndala nti bbo nga abasiiramu tebaziganyuddwamu olwo bukwakulizo obuziru obukontaana n’amateeka agafuga eddini yabwe.
Abasiiramu bagamba nti program ezo zirimu okuzaayo ssente nga mulimu amagoba amateeka g’obusiiramu kyegatakkiriza, kwekusaba government okubaterawo program ezitalimu kusaba magoba nabo bekulakulanye.
Mufti wa Uganda Sheik Shaban Ramathan Mubajje abadde akulembeddemu okusaala Swallati Eid Elfitir ku muzikiti gwa Kampala Mukadde, nasaba president Museveni okugamba kubalwanyisa enkola ya ISLAMIC BANKING nti teyaretebwa ku balwanyisa.
Mufti mungeri yeemu avumiridde ebikolwa ebigenda maaso ebyokulwana mu Sudan, nasaba enjuyi zombi okukaanya okukolera awamu olw’ebiseera bya bannansi ba Sudan ebyomumaaso.
Bisakiddwa: Lubega Mudashiru