Ba ssentebe ba district ezikola Greater Kampala Metropolitan, ssibamativu n’ekiriwoozo kya president wa Uganda Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni kungabanya ya ssente z’enkulakulana eza Parish Development Model, (PDM) naddala mu bitundu bya Kampala.
President Museveni bweyabadde e Kololo mu kutongoza kaweefube agendereddemu okubala abantu mu ggwanga lyonna anakulemberwamu ekitongole ky’ebibalo ekya UBOS, yagambye nti yakizudde nga Kampala enkola ya Parish Development Model, (PDM), tegenda kumala ssinga enateekebwamu nga bweyasooka okulambikibwa.
Mu nkola y’okugabanya ssente za PDM, kyalambikibwa nti buli muluka gulina okuweebwa obukadde bwa shs 100 obunagabanyizibwa mu batuuze okwekulakulanya nekiruubirirwa ky’okubaggya mu bwavu.
Wabula president Museveni yagambye nti esaawa yonna bakukyusa enteekateeka eno mu Kampala, eggyibwe ku mutendera gw’omuluka eddizibwe ku byalo, kuba omuwendo gw’abantu ku mutendera gw’omuluka mu Kampala munene ddala okusinga ku nsimbi eziweebwa.
President Museveni yagambye nti waakiri ensimbi zino obukadde e 100 mu Kampala buweebwe buli kyalo kuba omuluka gusobola okubaamu ebyalo ebiwera mu Kampala, obutafananako mu bitundu byewalala nga mu district z’omumasoso geebyalo.
Wabula abamu ku ba ssentebe ba district ezikola Greater Kampala Metropolitan, okuli Wakiso, Mukono ne Mpigi, bagamba nti newankubadde enkola eno yaalibadde nnungi ddala, tesanidde kukoma mu Kampala wokka.
Ssentebe wa district ye Mukono, Peter Bakaluba Mukasa, ategezezza Cbs nti enteekateeka eno, bazze bajisaba government kyokka nti kyenyamiza okulaba nti basazeewo ku gyesigamya ku kibuga kya Kampala kyokka.
Ssentebe wa district ye Wakiso, Dr. Matia Lwanga Bwanika, agambye nti government ekyalemye okukola okunonyereza okwessimba mu nteekateeka zaayo ku buweereza eri abantu, nti ng’ebisinga esalirawo mu kusooka kugezesa entegeka gy’ebeera ereese, ate oluvanyuma nekitakola ng’ate kyononeddwako obulindi bw’ensimbi.
Government mu mwaka gwa 2021 yatongoza enteekateeka y’okugabira banna Uganda ensimbi z’okwekulakulanya eza Parish Development Model (PDM) newankubadde nti banna Uganda bangi bazze bemulugunya, nti okuzifunako kumala kusimba kaggo, era ebitundu bingi ssente zino bazikonga lusu.
Bisakiddwa: Ddungu Davis