Enkalu z’eyongedde mu kibiina kya FDC wakati mukwetegekera okulonda abakulembeze abaggya okutandika nga 16 omwezi ogujja ogwa July.
Okulonda kwakutandikira ddala ku byalo okutuuka ku mukulembeze ow’okuntikko.
Enkalu zitandikira mu bamu naddala abegwanyiza ebifo ebibatuuza ku kakiiko akafuzi ak’ekibiina (NEC) abemulugunya ku nsimbi emitwalo 20 egyabagerekeddwa okusasula.
Okusinziira ku nsonda ezesigika mu kibiina kya FDC, ekiteeso ky’ensimbi zino kyayisibwa mukakiiko akafuzi akokuntiko akaliko kati.
Wabaddewo nebigambibwa nti ensimbi z’okwewandiisa mu bifo ebirala okuli President, Ssabawandiisi, Sentebe w’ekibiina zalinyisiddwa wabula Ssabawandiisi w’akakiiko kebyokulonda mu FDC Ojobile Augustine atangaziza kunsonga eno.
Enkalu endala ziri kubegwanyiza ekifo ky’omukulembeze ow’okuntiko mu kibiina wakati w’enkambi ya Ssabawandiisi w’ekibiina Nathan Nandala Mafaabi ne Ssalongo Erias Lukwago amyuka President w’ekibiina mu Buganda, nga kigambibwa nti ono yalina obuwagizi bwa Col Dr Kiiza Besigye eyaliko president w’ekibiina.
Wabula ensonda endala mu nkambi ya Dr Besigye ziraze nti waliwo ekiteeso ky’okwagala okuggya Ssalongo Elias Lukwago mulwokaano nga bagamba nti apapye okwesimbawo ku ntebe enenne nga yakegatta ku kibiina.
Abalala bagala Proscovia Salaam Musumba yaaba wakiri avuganya ku kifo ekyo, ng’ono mu kiseera kino y’amyuka President wa FDC mu bitundu by’obuvanjuba bwa Uganda.
Okusika omuguwa okulala kuli mu kufulumya Card z’ekibiina empya, wabula nti mu kiseera kino Ssabawandiisi w’ekibiina Nathan Nandala Mafaabi akyaganye okuziteekako omukono, olw’okwekengera nti wandibaawo olukwe lw’okuzigabira abamu ku bantu abaagobebwa mu kibiina era abasuubirwa nti tebamuwagira.
Embeera eno yawalirizza abakulu okuleeta nebakanyama okwebungulula ekitebe ky’ekibiina e Najanankumbi, era wiiki ewedde yonna babadde ku kitebe oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti waliwo obubinja bwa banakibiina abagala okwegugunga nga basinziira ku kitebe.
Enkalu endala kigambibwa nti ziri wakati wómukulembeze wékibiina kino aliko, Eng. Patrick Amuriat Oboi ne Ssabawandiisi wákyo Nathan Nandala Mafabi ate nga bebatambuzibwaako ensonga zékibiina.
Cbs bwetukiridde omukulembeze wékibiina. Eng Patrick Amuriat Oboi ku muliro oguli mu kibiina n’engeri gyegukwatiddwamu, ayogedde kaati nti enkokola zámaanyi mu kibiina, wabula nti waliwo akakiiko k’abakadde akaweereddwa omulimu gwókunoonyereza ku buzibu obuliwo mu kibiina era babusalire amagezi
Amuriat agambye nti akakiiko kano obudde bwonna kagenda kufulumya alipoota yaako balabe obutakanya buno gyebwava, n’engeri gyebuyinza okuleetera ekibiina okwekutulamu babusalire mangu amagezi.
Bisakiddwa: David Kiyengo ne Sharif Lukenge