Omuteesiteesi omukulu mu ministry y’ebyobulamu mu Uganda Dr. Diana Atwine mwennyamivu olw’abantu ab’esomye okutwala ettaka okutudde amalwaliro, n’alabula nti kizingamya enkulakulana y’ebyobulamu mu ggwanga.
Atwine abadde alambula eddwaliro ekkulu e Kayunga eririko embiranye ku ttaka mweritudde.
Atwine agambye nti eddwaliro limaze emyaka egisoba mu makumi 50 nga mpaawo y’emulugunya ku ttaka kweritudde, wabula kaakano nga waliwo ab’esowoddeyo nebalisalako ettuundutundu mu ngeri etategeerekeka.
Atwine yamaze olunaku lulamba ng’alambula eddwaliro lino erye Kayunga ery’asumuusibwa okuva ku mutendera gwa District hospital, okudda ku mutendera gwa Regional referral.
Ebimu ku by’asanze kye ky’abasawo mu ddwaliro tebamala, betaaga okwongerwako.
Wabula asiimye enzirukanya y’emirimu mu ddwaliro lino, wadde wakyaliwo ebyetaagisa bingi, okutuuka ku mutindo ogw’etaagisa.#