Minister weby’entambula Gen. Katumba Wamala, atongozza technology omuggya (probese) okuva e Malaysia agenda okugezesebwa okukola enguudo za Uganda.
Ezimu ku nguudo zebatandikiddeko okugezesa ne tecknology ono lwe lwa Kakiri-Masuluuta-Mawale oluwezaako kilometer 23.
Oluguudo luno lusuubirwa okuwemmenta obuwumbi bwa shs obusoba mu 13.
Chief Engineer owa ministry yeby’enguudo, Eng. Samson Baguma agambye nti tecknology ono atongozeddwa e Masuliita, gwebatuumye Probese, basuubira nti wakuyamba okukola ku nguudo ezitambulirako emmotoka entono ezitasukka 3000 buli lunaku.
Baguma agambye nti technology ono e Malaysia gyakopeddwa enguudo zabwe bazikubye kolaasi ebitumdu 90 ku 100, so ngate mu Uganda ziri ku bitundu 5 ku buli 100 byokka.
Minister Gen Katumba Wamala agambye nti balina enteekateeka essaawo omusolo ogw’enjawulo ku bimmotoka ebinene ebiyita ku nguudo ezo, nti kubanga byebisinga okuziviirako okwonooneka amangu.
Bisakiddwa : Kawuma Masembe