Ekika ky’eEndiga kiwangudde Engabo y’ebika by’Abaganda ey’Omupiira gw’ebigere eya 2022.m ekubye Olugave goolo 1-0.
Omupiira gubaddeko mu kisaawe e Wankulukuku mu Kampala..
Goolo y’ekika ky’Endiga eteebeddwa muyizzi tasubwa George Ssenkaaba agucangira mu Kitala FC.
Olugave lubadde lukubye goolo ey’ekyenkanyi neesazibwaamu olw’abazannyi okuteega.
Ate mumupiira ogw’okubaka ’Engeye ekubye Emmamba obugoba 37 – 35, era nayo neesitukira mu ngabo y’Omwaka 2022.#