Ekitongole ekivunanizibwa ku bigezo mu ggwanga ki Uganda National Examinations Board, (UNEB), kitegezezza nti ekyókusaba abazadde endaga muntu, olwo abaana babwe balyoke bawandiisibwe okutuula ebigezo ebyakamalirizo, nti sikyekimu ku bukwakkulizo obwassibwawo okuwandiisa abaana babwe.
Omwogezi wa UNEB, Jenifer Musamba Kalule, agamba nti UNEB ekyali mu kuwandiisa abayizi okutuusa nga 31 omwezi ogujja ogwa May.
Agambye nti kyebasinga okwetaaga mu kiseera kino bebazadde okuwandiisa abaana babwe mu kiseera ekisigaddeyo abanalemwa bakukubibwa engassi.
Jennifer Kalule agamba nti abayizi byebasinza okubetaaza kuliko akafaananyini, n’okutereeza amannya gaabwe nga bwegawandiikibwa mu bbaluwa z’obuzaale.