Ababaka ku ludda oluvuganya government basimbye nnakakongo ku nsonga y’okuggyako banna Uganda ebbeetu okulima n’okusuubula emmwanyi.
Bagala government eddemu yetegereze endagaano gyeyakola ne kampuni ya Vinci Coffee Company limited egambibwa okuweebwa olukusa, okusuubula emmwanyi za Uganda, oba okuyita mu kooti esazeemu endagaano eno.
Ababaka bagamba nti okusinziira ku biri mu ndagaano,kampuni eni kumpi government yeyakwasa yokka obuvunanyizibwa bwonna okuddukaganya ekireme kyemwaanyi mu Uganda.
Mu ndagaano eno ayafuuse kasonsomolera ,government yawa obuyinza eri kampuni eno nti yeyokka erina obuvunanyiizibwa okugereka ebbeeyi y’emmwanyi n’okuzigula mu ggwanga lyonna.
Era kyakkaanyizibwa nti tewali kampuni ndala yonna ejja kukkirizibwa kugula mmwanyi nga kampuni eno tenafuna mwaanyi zeyetaaga.
Government yeyama okusonyiwa kampuni eno omusolo okumala emyaka 10 nga tesasula yadde ennusu.
Kampuni yeemu eno mu ndagaano government gyeyakola nayo, government yeyama okugikendereza ku bbeeyi y’amasanyalaze genaakozesa ku kkolero lyayo ery’emmwanyi.
Buli unit y’amasanyalaze kampuni yakugigula cents 5 zokka eziri wansi ddala, okusinziira ku beeyi banansi gyebagulirako amasanyalaze.
Mu lukungaana lwabannamawulire ab’oludda oluvuganya government lwebatuuzizza ku parliament,bagambye nti tebayinza kukkiriza ndagaano eno kussibwa mu nkola ng’ekotoggera bannauganda.
Omubaka omukyala owa district y’e Mityana era omwogezi w’oludda oluvuganya gavumenti Joyce Bagala agambye nti kyewunyisa nti government ebiita abagwira nebaleka okwegazaanyiza mu buli mulimu olwo banna Uganda nebajjibwako eky’obuggagga kyabwe.
Bagala alumirizza nti ”lino lyandiba ekkobaane okulemesa n’okusuula enteekateeka ya Katikkiro Charles Peter Mayiga eya Mmwaanyi Terimba”
Dr. Abed Bwanika agambye nti wadde bino byonna weebiri bannauganda tebasaanye kulekera awo kusimba mmwanyi.
Bano era basuubizza nti ng’ababaka b’akabondo k’abava mu Buganda bagenda kukyalirako Katikkiro e Mengo bongere okuttaanya n’okulambikibwa ku nsonga y’emmwanyi n’okutalaaga ebitundu by’eggwanga ebirala okuli Bugishu,westnile ne Bushenyi abasinga okulima emmwanyi.
Dr Abed Bwanika minister webyobulimi ku ludda oluvuganya government alabudde nti byonna ebyakolebwa mu ndagaano eno bigendereddwamu kugoba bannansi ku kirime,n’awa bannauganda amagezi obutagwamu ssuubi era bagende mu maaso okulima emmwanyi mu bungi.
Munnmatteeka Richard lumu omubaka wa Mityana South yewuunyiza engeri abakulu mu ministry yebyensimbi ,gyebayinza okuteeka omukono ku ndagaano efanaana bwetyo ,egendereddwamu okutatana ebyenfuna byabannansi n’eggwanga lyonna.
Dr philip Lulume Bayiga amyuka ssentebbe wakabondo kababaka abava mu Buganda alabudde nti abantu bonna abaateeka emikono ku ndagaano eyo,bakunoonyerezebwako.
Kinnajjukirwa nti gavument bweyaali tenaateeka mukono ku ndagaano eno ng’eyita mu minister w’ebyensimbi Matia Kasaija , ekitongole kyemwanyi mu Uganda ki UCDA kyaasooka kuwanduukulula Uganda mu mukago gwensi yonna ogwemwanyi ogwa International Coffee Organisation.
Ababaka bano bagala government erekere banna Uganda ebbeetu okwerimira emmwanyi n’okuzisuubula, nti kubanga Uganda ggwanga erikkiriza buli muntu okwenyigira mu by’obusuubuzi.
Kampuni eyogerwako eya Vinci Coffee Company limited nannyini yo omukyala Enrica Penetti, kigambibwa nti omuntu yoomu government gweyeewolerera trillion 1 n’obuwumbi 400 okuzimba eddwaliro lya Lubowa international super specialized hospital e Lubowa, ku luguudo lwe Entebbe.
N’okutuusa olwaleero wadde ensimbi nnyingi zaasasanyizibwa ddyo eddwaliro likyali mu lufumo.