Ababaka ku kakiiko ka parliament akalondoola ebyobusuubuzi ,amakolero n’ebibiina byobwegassi bayitiddwa enkya yaleero mu kafubo ekenjawulo, okwogera ku alipoota ekwata ku ndagaano y’emmwanyi ,ekyalemeddwa okuteekebwa ku lukalala lw’ebiteeso parliament byekubaganyako ekirowoozo mu ntuula zaayo (order paper).
Endagaano eno goverment yagikola ne Vinci coffee company limited, nga yagiwa enkizo okusuubula emmwanyi mu Uganda nga yegereka n’ebbeeyi, ekyennyamiza bannabauganda abawera.
Mu ngeri yeemu, olukiiko lwa Buganda lwayisizza ekiteeso ekiwagira endagaano eyo okusazibwamu.
Sipiika wa parliament Anita Annet Among yalagira akakiiko ka parliment akalondoola ebyobusuubuzi okwekennenya endagaano eyo.
Akakiiko kazze kasisinkana abantu abenjawulo omuli abalimi b’emmwanyi,abasuubuzi,bannakyewa n’abalala.
Wiiki bbiri eziyise akakiiko kaamaliriza alipoota,wabula n’okutuusa kati tenaleetebwa mu parliament kuteesebwako.
Sipiika Anita Among n’omumyuka we Thomas Tayebwa wamu ne ssentebe w’akakiiko kano Mwiine Mpaka, wiiki ewedde nabo baasisinkana omukulembeze w’eggwanga ku nsonga y’endagaano eno.
Wadde alipoota y’ebyava mu kwekennenya endagaano eno tenayanjulwa mu parliament, ebimu ku byasomolwa byalaga nti akakiiko kaasemba endagaano esazibwemu.
Ssentebe w’akakiiko ak’ebyobusuubuzi ,amakolero n’ebibiina by’obwegassi Mwiine Mpaka, babaka banne okubanyonyola n’okusalira awamu amagezi ku mbeera ekwata ku alipoota gyebasaako emikono.
Wabula kitegerekese nti ensisinkano yabwe egenda kubeera yakyama era siyakukkirizibwamu bannamawulire