• Latest
  • Trending
  • All
Emyaka giweze 25 nga Uganda ejjukira abazira baayo – abaazirwanako n’abalina eby’enkizo ebirala byebakoledde eggwanga

Emyaka giweze 25 nga Uganda ejjukira abazira baayo – abaazirwanako n’abalina eby’enkizo ebirala byebakoledde eggwanga

June 9, 2026
Government ekkiriza okusasula ba Intern doctors ensako ya kakadde ka shs kamu buli mwezi

Government ekkiriza okusasula ba Intern doctors ensako ya kakadde ka shs kamu buli mwezi

August 18, 2026
Court  orders New Park Lockup Owners Association to compensate 2 traders billions of shillings 

Abasajja 2 ababadde batemula aba bodaboda baakumala mu kkomera emyaka 150

August 17, 2026

NUP ne ANT eby’okugabana ku nsimbi za IPOD bikyaziηηamye – ebirala byagabanye buwumbi

August 17, 2026

Buddu ekubiddwa omupiira ogusoose – mu mpaka z’amasaza ga Buganda 2026

August 16, 2026
Gomba etangaazizza emikisa gyayo egy’okuva mu kibinja mu mpaka z’Amasaza ga Buganda 2026 – ekubye Ssese 2-1

Gomba etangaazizza emikisa gyayo egy’okuva mu kibinja mu mpaka z’Amasaza ga Buganda 2026 – ekubye Ssese 2-1

August 15, 2026
Kitalo ! Munnabitone Alex Mukulu  1954 – 2026

Kitalo ! Munnabitone Alex Mukulu 1954 – 2026

August 15, 2026
Waliwo nnamateeka abagala parliament erangirire mu lwatu – nti ba minister abaalina obutuuze bw’amawanga amalala bwasaziddwamu

Waliwo nnamateeka abagala parliament erangirire mu lwatu – nti ba minister abaalina obutuuze bw’amawanga amalala bwasaziddwamu

August 14, 2026
Emmundu 2 zezibbiddwa mu bulumbaganyi obukoleddwa  ku kkomera e Kyegegwa

Emmundu 2 zezibbiddwa mu bulumbaganyi obukoleddwa ku kkomera e Kyegegwa

August 14, 2026
Police ekutte ddereeva eyavaako akabenje omwafiira bannamwulire ba Next Media

Police ekutte ddereeva eyavaako akabenje omwafiira bannamwulire ba Next Media

August 14, 2026
Ministry y’ebyobulamu ewolerezza amalwaliro ga government agasaba abalwadde ensimbi

Ministry y’ebyobulamu ewolerezza amalwaliro ga government agasaba abalwadde ensimbi

August 13, 2026
Ministry y’ebyobulamu ewolerezza amalwaliro ga government agasaba abalwadde ensimbi

Omuyimbi Vinka ekiise embuga naayanjulira Katikkiro Mayiga ekivvulu kye – ekiriwo nga 21 August,2026 ku Cricket Oval

August 13, 2026
Kooti esalidde Luggya Bbosa Tabula ne Luggya Noah ekibonerezo kyakuttibwa ku kalabba – olw’okutemula Eng.Daniel Bbosa eyali Omukulu w’ekika ky’Endiga

Kooti esalidde Luggya Bbosa Tabula ne Luggya Noah ekibonerezo kyakuttibwa ku kalabba – olw’okutemula Eng.Daniel Bbosa eyali Omukulu w’ekika ky’Endiga

August 13, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Opinions

Emyaka giweze 25 nga Uganda ejjukira abazira baayo – abaazirwanako n’abalina eby’enkizo ebirala byebakoledde eggwanga

by Namubiru Juliet
June 9, 2026
in Opinions
0 0
0
Emyaka giweze 25 nga Uganda ejjukira abazira baayo – abaazirwanako n’abalina eby’enkizo ebirala byebakoledde eggwanga
0
SHARES
38
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Ennaku z’omwezi ziri 09 June, buli mwaka lwerujjukirirwako abazira ba Uganda, naddala abo abeetaba mu lutalo olwaliro wakati wa 1981 -1986, olwaleero government ya NRM mu buyinza.

Omu ku bazira abajjukirwa ennyo ye Edidian Mukiibi Luttamaguzi ayogerwako nti yeyakweeka eyali akulira abayeekera ba National Resistance Army abaali bakulirwa Yoweri Kaguta Museveni, amagye ga government ya Miton Obote bwegaali gamugudde mu buwuufu.

 

Mwami Museveni yasimattuka era kati emyaka giri 40, bukyanga ye banne bawangula olutalo lw’ekiyeekera mu January 1986.

Mu mwaka 2001, Olunaku luno olwa nga 09 June yalulangirira nti lwakuwummula mu ggwanga lyonna, ne kubitebe bya Uganda ebisangibwa mu mawanga amalala okujjukira abazira abo abaafiira mu lutalo luno, naabo abalina kyebakoze okukyuusa eggwanga lino mu buweereza obw’enjawulo.

Olunaku lw’omwaka guno 2026, government yasazeewo lukuzibwe mu nkola eya Science nga omukolo guli mu maka gobwa President Entebbe ng’abantu 25 bebaayitiddwa abalala bakugugoberera okuyita ku mikutu gy’ebyempuliziganya.

Minister w’ensonga zobwa President Milly Babalanda yategeezezza nti kino kyakolebwa okwewala ekirwadde kya Ebola ekitadde eggwanga ku bunkeenke.

 

Hajji Abdu Nadduli omuwabuzi wa President ku nsonga za Buganda nga yoomu kubaali abalwanyi abaaleeta government eno mu buyinza, agambye nti wadde waliwo okusoomozebwa okutonotono, naye olunaku luno lwankizo nnyo okukukuzibwa okujjukira abo abaalwanirira eggwanga lino.

 

Christopher Kabuye Kyoffatogabye Minister omubeezi owa Kampala nga yoomu ku baana babalwanyi naye agamba, nti abafiirira eggwanga lino baasima omusingi eggwanga kweritambulira olwaleero era basaanye okujjukirwa.

 

Wabula ssentebbe wa district ye Luweero, Erenesto Kibiranga agamba nti okugyako okuwulira nti emikolo gikuzibwa buli mwaka, bannaLuweero district etambulirako ensonga zolunaku luno tebalina kyebaganyuddwa wadde, so nga naabazirwanako bagamba nti bangi tebaganyuddwa.

President Yoweri Museveni azze alabula abaazirwanako mu lutalo lwékiyeekera olwaleeta NRM mu buyinza, nti bakomye okwekubagiza olutatadde nókusuubirizanga mu kuweebwa obuweebwa buli kintu, wabula beyambise enkola za government omuli Parish Development model n’Emyooga okwekulaakulanya.#

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Government ekkiriza okusasula ba Intern doctors ensako ya kakadde ka shs kamu buli mwezi
  • Abasajja 2 ababadde batemula aba bodaboda baakumala mu kkomera emyaka 150
  • NUP ne ANT eby’okugabana ku nsimbi za IPOD bikyaziηηamye – ebirala byagabanye buwumbi
  • Buddu ekubiddwa omupiira ogusoose – mu mpaka z’amasaza ga Buganda 2026
  • Gomba etangaazizza emikisa gyayo egy’okuva mu kibinja mu mpaka z’Amasaza ga Buganda 2026 – ekubye Ssese 2-1

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist