Minister w’abavubuka eby’emizannyo n’ebitone Owek Ssalongo Robert Sserwanga asabye abazadde bulijjo okubeera abasaale mu kuwagira abaana baabwe mu byemizannyo, kuba ebyemizannyo gwafuuka mulimu oguvaamu ensimbi ez’okwekulakulanya.
Owek Sserwanga bino abyogeredde ku ssetendekero wa St Lawrence University bw’abadde akulembeddemu emikolo egy’okuggulawo empaka z’ebika bya Baganda ez’okubaka ez’omwaka guno 2024.
Ssentebe w’olukiiko oluddukanya empaka z’ebika bya Baganda Katambala Al Hajji Magala Sulaiman, asabye abazukulu abalina obusobozi okukwatirako ttiimu z’ebika byabwe okusobola okuvuganya obulungi.
Atwala omuzannyo gw’okubaka Dr Sarah Nkonge Muwonge, agambye nti bateeseteese okwongera ku bitone bya bazannyi nga babaangula mu mirimu emirala egisobola okuvamu ensimbi.
Yennyamidde olw’ebika ebitasobodde kwewandiisa kwetaba mu mpaka z’omwaka guno, kyagambye nti kikotoggera ebitone by’abaana abawala.
President wa Uganda Primary Schools Sports Association, William Bwambale, ku mukolo guno awadde buli ttiimu y’ekika emipiira 2 ate ne box z’amazzi 5 buli ttiimu, kyokka akinogaanyizza nti wakukolagana butereevu n’Obwakabaka okusitula ebitone mu Buganda.
Joselyn Uchanda ttiimu manager wa club ya NIC egucangira mu liigi ya babinywera ey’okubaka, yebazizza Obwakabaka olw’enkolagana ennungi era akakasiza nti bakutambulira wamu okusitula omuzannyo gw’okubaka.
Emizannyo egizanyidwa olwaleero, Enjovu ekubye Empindi obugoba 69-00, Engoonge 42-26 Musu, Embogo 29-20 Mamba Kakoboza, Olugave 39-09 Endiga. Engeye 34-06 Nvuma, Emamba Namakaka 25-22 Butiko ate era e Mamba Namakaka ekubye Empeewo obugoba 38-07.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe