Olukiiko oluddukanya ttiimu y’essaza Buddu luwandiikidde olukiiko oluddukanya empaka z’amasaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere nga bawawabira ttiimu y’essaza Kyadondo, eyagaanye okugenda e Buddu okuzannya nayo omupiira ogw’okuddingana ku mutendera gwa quarterfinal ekyabafiirizza okufuna ensimbi eziddukanya ttiimu y’essaza.
Kyadondo yabadde eteekeddwa okukyalira Buddu mu kisaawe kya Masaka Recreation ku Sunday ewedde nga 24 September,2023, kyokka yagaanye okugenda e Buddu okuzannya omupiira guno nga erumiriza nti waaliwo ebitaagenda bulungi mu mupiira ogwasooka e Gayaza mu Kyadondo Buddu gweyawangula goolo 2-1.
Mu bbaluwa eteekeddwako omukono gwa ssentebe wa ttiimu ya Buddu, Lutaaya Joseph, agambye nti mu kwetegekera omupiira ogw’okuddingana ne Kyadondo bataddemu ensimbi nnyingi okuteekateeka omupiira guno, ng’omugatte ensimbi zino ziri obukadde 10 n’omusobyo.
Lutaaya Joseph agambye nti obutajja bwa Kyadondo bwaleese obulumi bungi eri Bannabuddu nga nabamu babadde basasudde ensimbi zabwe okuyingira okulaba omupiira guno, kyokka bawaliriziddwa okuzibaddiza.
Mu bbaluwa eno era Buddu eraze nti omupiira yabadde ebaliridde okugufunamu obukadde 60 olwo baggyeko ensimbi obukadde 10 zebaakozesezza munsasaanya basigazeewo obukadde 49 ez’okuddukanya ttiimu yabwe.
Buddu kati eyagala Kyadondo ebaliyirire ensimbi obukadde 30 olw’okukosebwa kuno basobole okufuna ezitandikirwako okukuumira ttiimu eno mu mbeera ennungi ng’eri mu nkambi.
Buddu yatuuse ku mutendera gwa semifinal oluvannyuma lwa Kyadondo obutalabikako.
Buddu kati erindiridde kuttunda ne Gomba mu kisaawe e Kabulasoke, ate Mawokota ettunke ne Bulemeezi mu kisaawe e Buwama ku Sunday nga 01 October,2023.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe