Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA kikakasizza nti kyetegefu okutegeka empaka za CECAFA Senior Women’s Championship ezitaandika wiiki ejja, ttiimu zámawanga amalala zitandika lwakutaano luno okutuuka.
Empaka zino zigenda kuzanyibwa okuva nga 1 okutuuka nga 11 June, 2022 ku kisaawe kya FUFA Technical Center e Njeru, era ttiimu 8 zezigenda okuvuganya mu mpaka zino.
Omumyuka ow’okusatu era ssentebe w’olukiiko oluteekateeka empaka zino, Florence Nakiwala Kiyingi, agambye nti ttiimu ya Djibouti yesuubirwa okusooka okutuuka ku lw’okutaano luno nga 27, ate enkeera ku lw’omukaaga Tanzania etuuke.
Empaka zino zigenda kwetabwamu amawanga 8 nga abategesi aba Uganda bali mu kibinja A ne Burundi, Rwanda ne Djibouti, ate mu kibinja B mulimu Tanzania, Zanzibar, South Sudan ne Ethiopia.
Mu kiseera kino ttiimu y’eggwanga eya Crested Cranes eri mu nkambi ku FUFA Technical Center e Njeru,erimu abazannyi 30,etendekebwa George William Lutalo.
Uganda Crested Cranes egenda kweyambisa empaka za CECAFA Women Championships okwetegekera empaka za Africa Women Cup of Nations, ezigenda okubeera e Morocco okuva 2 okutuuka nga 23 July,2022.
Mu mpaka zino Uganda Crested Cranes eri mu kibinja B nabategesi aba Morocco, Burkina Faso ne Senegal.